Add parallel Print Page Options

(A)Awo omubazzi n’agumya omuweesi wa zaabu omwoyo,
    n’oyo ayooyoota n’akayondo
    n’agumya oyo akuba ku luyijja
ng’ayogera ku kyuma ekigatta nti, “Nga kirungi,”
    era ne bakikomerera n’emisumaali kireme okusagaasagana.

Read full chapter

(A)Bakatonda baabwe bakole mu ffeeza ne zaabu,
    ebikolebwa n’emikono gy’abantu.
(B)Birina emimwa, naye tebyogera;
    birina amaaso, naye tebiraba.
Birina amatu, naye tebiwulira;
    birina ennyindo, naye tebiwunyiriza.
Birina engalo, naye tebikwata;
    birina ebigere, naye tebitambula;
    ne mu bulago bwabyo temuvaamu ddoboozi n’akamu,

Read full chapter

(A)Awo bwe yazza effeeza, nnyina n’addira ebitundu ebikumi bibiri ebya ffeeza[a], n’abiwa omuweesi wa ffeeza, n’abikolamu ekifaananyi ekyole n’ekifaananyi ekisaanuuse. Ne biteekebwa mu nnyumba ya Mikka.

(B)Omusajja oyo Mikka yalina essabo. N’akola efodi, n’ebifaananyi ebyole n’ayawula omu ku batabani be okuba kabona we.

Read full chapter

Footnotes

  1. 17:4 ze kilo nga bbiri ne desimoolo ssatu