Add parallel Print Page Options

10 (A)“Muli bajulirwa bange,” bw’ayogera Mukama,
    “omuweereza wange gwe nalonda:
mulyoke mummanye, munzikirize,
    mutegeere nga Nze wuuyo:
Tewali Katonda eyansooka
    era teriba mulala alinzirira.

Read full chapter

35 (A)Eddoboozi ne liva mu kire ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange, gwe nneeroboza, mumuwulirize!”

Read full chapter

(A)Mujje gy’ali kubanga ye ly’ejjinja eddamu, abantu lye baasuula nga balowooza nti terigasa, kyokka eryalondebwa Katonda era ery’omugaso omunene ennyo.

Read full chapter

(A)Kubanga ekyawandiikibwa kigamba nti,

“Laba, nteeka mu Sayuuni,
    ejjinja ery’oku nsonda ery’omuwendo omungi eddonde,
oyo eyeesiga Kristo,
    taliswazibwa.”

Read full chapter

(A)Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
    Mwoyo ow’amagezi n’okutegeera
    ne Mwoyo w’okusala ensonga, n’ow’amaanyi
    ne Mwoyo w’okumanya era n’okutya Mukama Katonda.

Read full chapter

16 (A)Awo amangwago Yesu nga yakamala okubatizibwa nga yaakava mu mazzi, eggulu ne libikkuka n’alaba Omwoyo wa Katonda ng’amukkako mu kifaananyi ky’ejjiba. 17 (B)Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”

Read full chapter

34 (A)Kubanga oyo eyatumwa Katonda ategeeza ebigambo bya Katonda, n’Omwoyo gw’agaba tagerebwa.

Read full chapter