Add parallel Print Page Options

(A)Totya, kubanga nze ndi nawe,
    ndireeta ezzadde lyo okuva ebuvanjuba
    era nkukuŋŋaanye okuva ebugwanjuba.

Read full chapter

27 (A)“Totya, ggwe Yakobo omuweereza wange;
    toggwaamu maanyi, ggwe Isirayiri.
Ddala ddala ndikununula okuva mu kifo eky’ewala,
    n’ezzadde lyo ndinunule okuva mu nsi ey’obuwaŋŋanguse bwalyo.
Yakobo aliddamu okufuna emirembe n’atebenkera,
    era tewali alimutiisa.
28 (B)Totya, ggwe Yakobo omuddu wange,
    kubanga ndi naawe,” bw’ayogera Mukama.
“Wadde nga nazikiririza ddala amawanga gonna
    gye nabasaasaanyiza,
    naye mmwe siribazikiririza ddala.
Ndibabonereza naye mu bwenkanya;
    siribaleka nga temubonerezebbwa.”

Read full chapter

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama oyo,
    eyakutonda era eyakubumba mu lubuto,
    ajja kukuyamba.
Totya ggwe Yakobo,[a] omuweereza wange,
    ggwe Yesuruni gwe nalonda.

Read full chapter

Footnotes

  1. 44:2 Wano Yakobo kitegeeza Isirayiri

14 (A)Mulinzuula era ndibakomyawo okubaggya mu buwaŋŋanguse. Ndibakuŋŋaanya mu mawanga gonna n’ebifo byonna, gye nabagobera, era ndibakomyawo mu kifo mwe nabaggya okubatwala mu buwaŋŋanguse,” bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

(A)Teribaayo mpologoma,
    so teririnnyayo nsolo yonna nkambwe;
    tezirirabikayo,
naye abanunule balitambulira eyo.

Read full chapter