Add parallel Print Page Options

(A)Kubanga ndifuka amazzi ku ttaka
    eririna ennyonta n’enzizi ku ttaka ekkalu.
Ndifuka Omwoyo wange ku zadde lyo,
    era n’omukisa gwange ku bazzukulu bo.

Read full chapter

13 (A)“Kubanga abantu bange bakoze ebibi bibiri,
banvuddeko
    nze ensulo ey’amazzi amalamu
ne beesimira ettanka ez’omu ttaka,
    ettanka ez’omu ttaka ezirimu enjatika ezitanyweeramu mazzi.”

Read full chapter

(A)Ku lunaku olwo amazzi amalamu galikulukuta okuva mu Yerusaalemi; agamu gagende mu nnyanja ey’Ebuvanjuba n’amalala mu nnyanja ey’Ebugwanjuba; mu kyeya ne mu ttoggo.

Read full chapter

Ensulo z’Amazzi amalamu

37 (A)Awo ku lunaku olw’embaga olusembayo, olusingira ddala obukulu, Yesu n’ayimirira n’ayogera n’eddoboozi ery’omwanguka n’agamba nti, “Buli alina ennyonta, ajje gye ndi anywe!

Read full chapter

38 (A)Ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti buli akkiriza Nze emigga egy’amazzi amalamu girikulukuta nga gifuluma mu mutima gwe!”

Read full chapter

(A)N’aŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ez’amazzi amalamu, ag’obuwa.

Read full chapter

Omugga ogw’Obulamu

22 (A)Awo malayika n’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu agamasamasa ng’endabirwamu, nga gukulukuta okuva mu ntebe ey’obwakabaka eya Katonda, n’ey’Omwana gw’Endiga,

Read full chapter

17 (A)Omwoyo n’Omugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi ag’obulamu ag’obuwa.

Read full chapter