Isaaya 46:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)“Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo
n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri.
Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto,
be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.
Isaaya 51:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)“Mumpulirize,
mmwe abamanyi obutuukirivu,
eggwanga eririna amateeka gange
mu mitima gyammwe.
Temutya kuvumibwa bantu
wadde okukeŋŋentererwa olw’okuyomba kwabwe.
Zabbuli 94:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Aliramula mu butuukirivu,
n’abo abalina emitima emigolokofu bwe banaakolanga.
Abaruumi 9:30-31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Obutakkiriza bw’Abayudaaya
30 (A)Kale tunaagamba ki? Tugambe nti Abaamawanga abataagobereranga butuukirivu, baafuna obutuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza, 31 (B)naye Isirayiri mu kugobereranga amateeka ag’obutuukirivu, teyafuna butuukirivu obwo?
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.