Isaaya 48:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Omununuzi wammwe,
Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Nze Mukama Katonda wo
akuyigiriza okukulaakulana,
akukulembera mu kkubo ly’oteekwa okutambuliramu.
Zabbuli 22:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Naye nze ndi lusiriŋŋanyi, siri muntu;
abantu bampisaamu amaaso, n’abalala bannyooma.
Zabbuli 69:7-9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Ngumiikirizza okuvumwa ku lulwo,
n’amaaso gange ne gajjula ensonyi.
8 (B)Nfuuse nga omugwira eri baganda bange,
munnaggwanga eri abaana ba mmange.
9 (C)Nzijudde obuggya olw’ennyumba yo,
n’abo abakuvuma bavuma nze.
Isaaya 52:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)bw’atyo bw’anawuniikiriza amawanga mangi;
bakabaka balibunira ku lulwe;
kubanga ekyo ekitababulirwanga balikiraba,
era ekyo kye batawulirangako, balikitegeera.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.