Add parallel Print Page Options

24 (A)Kale ng’olulimi lw’omuliro bwe lwokya ekisagazi ekikalu,
    era ng’omuddo omukalu bwe guggweerera mu muliro,
bwe gityo n’emirandira gyabwe bwe girivunda,
    era n’ebimuli byabwe bifuumuuke ng’enfuufu;
kubanga baajeemera etteeka lya Mukama Katonda ow’Eggye,
    era ne banyooma ekigambo ky’Omutukuvu wa Isirayiri.

Read full chapter

18 (A)Ddala ekibi kyokya ng’omuliro;
    gumalawo emyeramannyo n’obusaana.
Era gukoleeza eby’omu kibira,
    omukka ne gunyooka ne gutumbiira waggulu.
19 (B)Olw’obusungu bwa Mukama Katonda ow’Eggye
    ensi eggiiridde ddala,
era n’abantu bali ng’enku ez’okukuma omuliro,
    tewali muntu alekawo muganda we.

Read full chapter

11 (A)Mukama Katonda omukono gwo guyimusibbwa waggulu,
    naye tebagulaba.
Ka balabe obunyiikivu bwo eri abantu bo baswazibwe,
    omuliro ogwaterekerwa abalabe bo ka gubamalewo.

Read full chapter

14 (A)Abakozi b’ebibi ab’omu Sayuuni batidde,
    okutya kujjidde abatalina Katonda.
“Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogusaanyaawo?
    Ani ku ffe ayinza okubeera awamu n’omuliro ogutaliggwaawo?”

Read full chapter

15 (A)“Kubanga laba Mukama Katonda alijjira mu muliro,
    era n’amagaali ge ag’embalaasi galiba ng’empewo ey’omuyaga.
Alijja n’obusungu bwe n’ekiruyi
    era alibanenya n’ennimi ez’omuliro.
16 (B)Omuliro n’ekitala
    Mukama Katonda by’alibonerezesa abantu bonna,
    n’abo abalisaanyizibwawo baliba bangi.

Read full chapter

24 (A)“Kale bwe baliba bafuluma, baliraba emirambo gy’abasajja abanneewaggulako; kubanga envunyu zaabwe tezirifa, so n’omuliro gwabwe tegulizikizibwa; era baliba kyennyinnyalwa eri abantu bonna.”

Read full chapter