Isaaya 5:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Noolwekyo obusungu bwa Mukama Katonda bubuubuukira ku bantu be,
n’agolola omukono gwe n’abasanjaga,
ensozi ne zikankana
era n’emirambo gyabwe ne gibeera ng’ebisasiro wakati mu nguudo.
Naye wadde nga biri bwe bityo, obusungu bwa Mukama Katonda tebunnakakkana
era omukono gwe gukyagoloddwa.
Ezeekyeri 38:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)n’ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n’ennyonyi ez’omu bbanga, n’ensolo enkambwe ez’omu nsiko, ne buli kyewalulira ku ttaka, n’abantu bonna abali ku nsi balikankana olw’okujja kwange. Ensozi zirisuulibwa n’ebbanga liribulunguka, ne buli bbugwe aligwa ku ttaka.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.