Add parallel Print Page Options

Ekikopo ky’Obusungu bwa Mukama

17 (A)Zuukuka, zuukuka, oyimirire ggwe Yerusaalemi
    eyanywa okuva eri Mukama ekikompe eky’obusungu bwe,
eyanywa n’omaliramu ddala
    ekibya ekitagaza.

Read full chapter

22 (A)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna,
    Katonda wo alwanirira abantu be.
“Laba mbaggyeeko ekikompe kye nabawa
    olw’ekiruyi kye nalina, ekyabatagaza.
Temuliddayo
    kukinywa nate.

Read full chapter

12 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Obanga abo abatandinywedde ku kikompe bawaliriziddwa okukinywako, lwaki mmwe temubonerezebwa? Temuuleme kubonerezebwa, mulina okukinywa.

Read full chapter

39 (A)N’abaleka awo ne yeeyongerayo akabanga, n’agwa wansi ng’avuunise amaaso ge ku ttaka, n’asaba nti, “Kitange! Obanga kisoboka, leka ekikompe kino kinzigibweko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”

Read full chapter

42 N’abavaako omulundi ogwokubiri akabanga n’agenda n’asaba ng’agamba nti, “Kitange! Oba tekisoboka ekikompe kino kuvaawo wabula Nze okukinywa, kale ky’oyagala kye kiba kikolebwa.”

Read full chapter

36 (A)N’asaba nti, “Aba, Kitange, ebintu byonna bisoboka gy’oli. Nzigyako ekikompe kino. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula nga ggwe bw’oyagala.”

Read full chapter

42 (A)“Kitange, obanga kwe kusiima kwo ekikompe kino kinzigyeko. Naye si nga Nze bwe njagala, wabula ky’oyagala kye kiba kikolebwa.”

Read full chapter

11 (A)Yesu n’alagira Peetero nti, “Zza ekitala mu kiraato kyakyo. Ekikompe Kitange ky’ampadde, siikinywe?”

Read full chapter