Isaaya 51:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Ebintu bino ebibiri bikuguddeko
ani anaakunakuwalirako?
Okuzika n’okuzikirira, enjala, n’ekitala,
ani anaakubeesabeesa?
Yeremiya 13:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Era buli omu alikoonagana ne munne, abalenzi ne bakitaabwe, bw’ayogera Mukama. Siribalumirwa, wadde okubaleka oba okubakwatirwa ekisa, ndibazikiriza.’ ”
Read full chapter
Yeremiya 21:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Oluvannyuma lw’ekyo, nnaawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abantu bonna mu kibuga kino abanaaba bawonye kawumpuli, ekitala n’enjala ebya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abalabe baabwe ababanoonya okubatta. Nebukadduneeza anaabatta n’ekitala, taabalage kisa n’akatono wadde okubasaasira oba okubasonyiwa.’
Read full chapter
Nakkumu 3:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Awo bonna abalikutunuulira balikwesamba ne bagamba nti,
‘Nineeve kifuuse matongo, ani anakikungubagira?’
Abalikikubagiza baliva wa?”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.