Isaaya 52:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna,
bagulabe.
Enkomerero z’ensi zonna
ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.
Lukka 3:4-6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky’ebigambo bya nnabbi Isaaya nti,
“Eddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddungu nti,
Mulongoose ekkubo lya Mukama,
Muluŋŋamye amakubo ge;
5 Buli kiwonvu kirijjuzibwa,
na buli lusozi n’akasozi birisendebwa,
na buli ekyakyama kirigololwa,
n’obukubo obulimu obugulumugulumu bulifuuka enguudo ez’omuseetwe.
6 (A)Abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.”
Isaaya 1:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)naye bwe munaagaananga ne mujeemanga
ekitala kinaabalyanga,”
kubanga akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
Isaaya 58:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)awo olifuna essanyu eriva eri Mukama
era olitambulira mu bifo by’ensi ebya waggulu
era ndikuwa obusika bwa kitaawo Yakobo”
Akamwa ka Mukama ke kakyogedde.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.