Add parallel Print Page Options

11 (A)bwe kityo ekigambo kyange ekiva mu kamwa kange bwe kiri;
    tekiriddayo bwereere,
naye kirikola ekyo kye njagala
    era kirituukiriza ekyo kye nakituma.

Read full chapter

21 (A)“Era, eno y’endagaano yange gye nkola nabo,” bw’ayogera Mukama. “Omwoyo wange ali ku ggwe era n’ebigambo byange bye ntadde mu kamwa ko, tebiivenga mu kamwa ko, oba mu kamwa k’abaana bo, wadde mu kamwa k’abaana b’abaana bo, okuva kaakano okutuusa emirembe n’emirembe,” bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

18 (A)Ddala ddala mbagamba nti Eggulu n’ensi biyinza okuggwaawo, naye ennukuta emu wadde akatonnyeze akamu mu mateeka tebirivaawo okutuusa byonna lwe birituukirira.

Read full chapter

24 Kubanga,

“Abantu bonna bali ng’omuddo,
    n’ekitiibwa kyabwe kiri ng’ekimuli ky’omuddo.
Omuddo gukala, ekimuli kyagwo ne kigwa.
25     (A)Naye ekigambo kya Mukama Katonda kibeerera emirembe gyonna.”

Era ekigambo ekyo y’Enjiri eyababuulirwa.

Read full chapter