Add parallel Print Page Options

(A)“Naye mmwe mujje musembere wano batabani b’omukazi omufumu
    ezzadde ly’omwenzi omukazi eyeetunda.
Muzannyira ku ani?
    Ani gwe mukongoola
    ne mumusoomooza?
Temuli baana ba bujeemu,
    ezzadde eryobulimba?
(B)Mwaka ne mwegombera wansi w’emiti
    na buli wansi wa buli muti oguyimiridde;
mmwe abasaddaaka abaana bammwe mu biwonvu
    ne wansi w’enjatika z’enjazi.
(C)Bakatonda bo ge mayinja amaweweevu[a] gosinziza mu biwonvu,
    abo be babo, obusika bwo;
abo b’ofukira ekiweebwayo ekyokunywa
    era n’ebiweebwayo eby’empeke.
    Nga weemalidde mu kukola bino byonna, olowooza nnyinza okusanyuka?
(D)Mwambuka ku ntikko z’ensozi okwenda
    nga mugenze okuwaayo ssaddaaka.
(E)Emabega w’enzigi zammwe
    we muteeka ebibumbe eby’obuwemu bye musinza.
Mwandeka ne mukola eby’obuwemu
    mu bitanda byammwe ebigazi.
Eyo gye mweyambulira ne mukola endagaano
    n’abo be mwagala be muleeta mu bitanda byammwe.
(F)Ne weekuba kalifuuwa omuyitirivu
    ng’ogenda okutwala amafuta ag’omuzeeyituuni ewa Moleki katonda wo,
n’otuma ababaka bo ewala ennyo banoonye bakatonda,
    kumpi batuuke n’emagombe.

Read full chapter

Footnotes

  1. 57:6 Amayinja amaweweevu gaakozesebwanga mu kusinza balubaale

Isirayiri Ebonerezebwa olw’Okusinza bakatonda abalala

20 (A)Mukama ow’eggye agamba nti,

“Isirayiri, ebbanga ddene eriyiseewo bukya weggya mu buyinza bwange,
    n’ogamba nti, ‘Sijja kukugondera.’
Era ddala, ku buli kasozi era na buli wansi w’omuti oguyimiridde
    wakuba obwamalaaya
    ng’ovuunamira bakatonda abalala.

Read full chapter