Add parallel Print Page Options

(A)Mwaka ne mwegombera wansi w’emiti
    na buli wansi wa buli muti oguyimiridde;
mmwe abasaddaaka abaana bammwe mu biwonvu
    ne wansi w’enjatika z’enjazi.

Read full chapter

23 (A)Beezimbira ebifo ebigulumivu n’empagi za Baaseri ku buli lusozi oluwanvu ne wansi wa buli muti omugazi.

Read full chapter

Isirayiri Ebonerezebwa olw’Okusinza bakatonda abalala

20 (A)Mukama ow’eggye agamba nti,

“Isirayiri, ebbanga ddene eriyiseewo bukya weggya mu buyinza bwange,
    n’ogamba nti, ‘Sijja kukugondera.’
Era ddala, ku buli kasozi era na buli wansi w’omuti oguyimiridde
    wakuba obwamalaaya
    ng’ovuunamira bakatonda abalala.

Read full chapter

28 (A)Bwe nabaleeta mu nsi gye nabalayirira ne balaba buli lusozi oluwanvu na buli muti ogwamera yo, ne baweerangayo ssaddaaka zaabwe, ne baweerangayo ebiweebwayo ebyannyiiza, ne banyookerezanga obubaane bwabwe, era ne baweerangayo n’ebiweebwayo ebyokunywa.

Read full chapter

13 (A)Baweerayo ssaddaaka ku ntikko z’ensozi,
    ne baweerayo ebiweebwayo ebyokebwa ku busozi,
wansi w’emyalooni, n’emiribine n’emyera
    awali ekisiikirize ekirungi.
Bawala bammwe kyebava baba bamalaaya,
    ne baka baana bammwe ne bakola obwenzi.

Read full chapter