Add parallel Print Page Options

Okusiiba okw’Amazima

58 (A)Kyogere mu ddoboozi ery’omwanguka,
    tokisirikira.
Yimusa eddoboozi lyo ng’ekkondeere,[a]
    obuulire abantu bange okusobya kwabwe, n’ennyumba ya Yakobo ebibi byabwe.

Read full chapter

Footnotes

  1. 58:1 Ekkondeere lyafuuyibwanga okukuŋŋaanya abaserikale beetegeke okulaga mu lutalo

Ekitiibwa kya Sayuuni Ekijja

60 (A)“Yimuka, oyake, kubanga ekitangaala kyo kizze kyase
    era ekitiibwa kya Mukama kikwakirako.

Read full chapter

19 (A)Enjuba si yeenekumulisizanga emisana,
    oba omwezi okukumulisizanga ekiro.
Kubanga Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe,
    era Katonda wo y’anaabeeranga ekitiibwa kyo.
20 (B)Enjuba yo terigwa nate,
    n’omwezi gwo tegulibula;
Mukama y’anaabeeranga ekitangaala kyo eky’emirembe n’emirembe
    era ennaku zo ez’okukungubanga zikome.

Read full chapter

Okutambulira mu Musana

(A)Buno bwe bubaka bwe twafuna okuva gy’ali: tubategeeza nti, Katonda musana; mu ye temuliimu kizikiza n’akatono.

Read full chapter

(A)Naye bwe tutambulira mu musana nga ye bw’ali omusana, olwo tussakimu buli muntu ne munne, n’omusaayi gwa Yesu Omwana we, gutunaazaako buli kibi kyonna.

Read full chapter