Add parallel Print Page Options

10 (A)Okakanyaze omutima gw’abantu bano,
    oggale amatu gaabwe,
    n’amaaso gazibe
si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe
    oba okuwulira n’amatu gaabwe
    oba okutegeera n’emitima gyabwe
ne bakyuka bawonyezebwe.”

Read full chapter

26 “ ‘Genda eri abantu bano obagambe nti,
Okuwulira muliwulira, naye temulitegeera
    n’okulaba muliraba naye temulyetegereza.
27 (A)Kubanga omutima gw’abantu bano gugubye.
    N’amatu gaabwe gazibikidde,
    n’amaaso gaabwe gazibiridde.
Si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe,
    ne bawulira n’amatu gaabwe,
    ne bategeera n’emitima gyabwe,
ne bakyuka okudda gye ndi, ne mbawonya.’

Read full chapter

(A)nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Katonda yabawa omwoyo ogw’okubongoota,
    n’aleetera amaaso gaabwe obutalaba,
    n’amatu gaabwe obutawulira
okutuusa leero.”

Read full chapter

18 (A)Amagezi gaabwe gajjudde ekizikiza. Tebalina mugabo mu by’obulamu bwa Katonda, kubanga bajjudde obutamanya era emitima gyabwe mikakanyavu.

Read full chapter