Add parallel Print Page Options

12 (A)Kubanga eggwanga oba obwakabaka ebitakuweereze byakuzikirira.
    Ensi ezo zijja kuggweerawo ddala.

13 (B)“Ekitiibwa kya Lebanooni kirikujjira,
    emiti egy’ettendo egy’enfugo,
omuyovu ne namukago gireetebwe okutukuza ekifo eky’awatukuvu wange,
    ekifo ebigere byange we biwummulira eky’ettendo.
14 (C)Batabani baabo abaakunyigirizanga balijja okukuvuunamira;
    era bonna abaakusekereranga balivuunamira ku bigere byo.
Balikuyita kibuga kya Katonda,
    Sayuuni ey’Omutukuvu wa Katonda.

Read full chapter

26 (A)Oyo aliwangula era n’oyo alisigala ng’akola emirimu gyange okutuusa ku nkomerero, ndimuwa obuyinza okufuga amawanga.

Read full chapter

(A)Awo ne ndaba entebe ez’obwakabaka nga zituuliddwako abaaweebwa obuyinza okusala emisango. Ne ndaba emyoyo gy’abo abaatemebwako emitwe olw’okunywerera ku Yesu ne ku kigambo kya Katonda, era abataasinza kisolo ekikambwe wadde ekifaananyi kyakyo era abatakkiriza kabonero kaakyo mu byenyi byabwe oba ku mikono gyabwe. Abantu abo ne balamuka era ne bafugira wamu ne Kristo okumala emyaka lukumi.

Read full chapter