Add parallel Print Page Options

(A)Baliddamu
    bazimbe ebyali bizise,
balirongoosa ebibuga
    ebyali byerabirwa edda.

Read full chapter

18 (A)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Ndizzaawo eby’obugagga by’eweema za Yakobo
    era mbeere n’ekisa ku kifo kyammwe kye mwabeerangamu.
Ekibuga kirizimbibwa awaali amatongo gaakyo,
    n’olubiri luzzibwe mu kifo kyalwo ekituufu.

Read full chapter

28 (A)Nga bwe nabalabirira nga bakuulibwa era nga bayuzibwayuzibwa, nga babetentebwa, era nga bazikirizibwa ne beeleetako ekikangabwa, bwe ntyo bwe ndibalabirira nga bazimbibwa era nga basimbibwa,” bw’ayogera Mukama.

Read full chapter

25 (A)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Bwe ndikuŋŋaanya abantu ba Isirayiri okubaggya mu mawanga gye baasaasaanyizibwa, nditukuzibwa mu bo mu maaso g’amawanga, era balituula mu nsi eyaabwe gye nawa omuddu wange Yakobo. 26 (B)Balituula omwo mirembe, era balizimba amayumba ne basimba n’ennimiro ez’emizabbibu. Bwe ndibonereza baliraanwa baabwe bonna abaabayisa obubi, bo baliba batudde mirembe. Olwo balimanya nga nze Mukama Katonda waabwe.’ ”

Read full chapter