Add parallel Print Page Options

Kubanga olunaku olw’okununula abantu bange lwali lutuuse,
    olunaku olw’okuwoolera eggwanga abalabe baabwe.

Read full chapter

24 (A)“Wiiki nsavu ze ziweereddwa abantu bo n’ekibuga kyo ekitukuvu okukomya ebikolwa byabwe ebibi, n’okuleka ebibi, n’okutangiririrwa olw’ebikolwa ebitali bya butuukirivu, n’okuleeta obutuukirivu obutaliggwaawo, n’okukakasa ebyo ebyayolesebwa n’ebyo ebyalangibwa, n’okufuka amafuta ku asinga obutukuvu.

25 (B)“Manya era tegeera ng’okuva ne kaakano ekiragiro nga bwe kiweereddwa ku kuzzibwawo kwa Yerusaalemi n’okutuusa ku kujja okw’omufuzi oyo eyafukibwako amafuta, waliba ebbanga lya wiiki musanvu. N’oluvannyuma kirizimbibwa mu wiiki nkaaga mu bbiri ne kiteekebwamu enguudo n’olusalosalo, newaakubadde nga biriba biro bya kutegana. 26 (C)N’oluvannyuma lwa wiiki enkaaga mu ebbiri, eyafukibwako amafuta alisalibwako, era taliba na kintu. Abantu ab’omufuzi balijja ne bazikiriza ekibuga n’awatukuvu, n’enkomerero ye erijja ng’amataba, n’entalo era n’okuzika okwalagirwa biryeyongera okutuusa ku nkomerero. 27 (D)Alikola endagaano enywevu n’abantu bangi okumala wiiki emu, naye wakati wa wiiki eyo aliggyawo emikolo gya ssaddaaka n’ebiweebwayo. Ne ku kiwaawaatiro eky’ebyemizizo kulijjirako oyo aleeta okubonaabona, okutuusa ekiseera eky’enkomerero ekyalagirwa nga kituukiridde ku ye.”

Read full chapter

(A)Ennaku ez’okubonerezebwa zijja,
    ennaku ez’okusasulirwamu ziri kumpi.
    Ekyo Isirayiri akimanye.
Olw’ebibi byammwe okuba ebingi ennyo,
    n’obukambwe bwammwe obungi,
nnabbi ayitibwa musirusiru,
    n’oyo eyabikkulirwa mumuyita mugu wa ddalu.

Read full chapter

22 Bino byonna byabaawo kisobole okutuukirira ekyayogerwa Mukama ng’ayita mu nnabbi we ng’agamba nti,

Read full chapter