Add parallel Print Page Options

(A)Kubanga omwana nga tannamanya kugamba nti, ‘Taata’, oba ‘Maama’, obugagga bw’e Ddamasiko n’omunyago gwe Samaliya birinyagibwa kabaka w’e Bwasuli.”

Read full chapter

Obubaka Obukwata ku Ddamasiko

17 (A)“Laba Ddamasiko tekikyali kibuga,
    kifuuse matongo.
(B)Ebibuga bya Aloweri babidduseemu:
    birirekerwa ensolo mwe zinaagalamiranga
    nga tewali azikanga.
(C)Ekigo eky’amaanyi kirisaanyizibwawo mu Efulayimu,
    n’obwakabaka mu Ddamasiko bulimalibwawo;
naye abalisigalawo mu Busuuli,
    baliba n’ekitiibwa ng’eky’abaana ba Isirayiri,”
    bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.

Read full chapter

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Olw’ebyonoono bya Isirayiri ebisatu
    weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.
Batunda obutuukirivu bafune ffeeza,
    ne batunda n’abaavu olw’omugogo gw’engatto.

Read full chapter