Add parallel Print Page Options

(A)Kubanga omwana atuzaaliddwa ffe,
    omwana owoobulenzi atuweereddwa ffe,
    n’okufuga kunaabanga ku bibegabega bye.
N’erinnya lye aliyitibwa nti,
    Wa kitalo, Omuwi w’amagezi, Katonda Ayinzabyonna,
    Kitaffe ow’Emirembe Gyonna, Omulangira w’Emirembe.

Read full chapter

14 (A)“Ekitiibwa kibe eri Katonda Ali Waggulu ennyo.
    N’emirembe gibe mu nsi eri abantu Katonda b’asiima.”

Read full chapter

19 (A)Katonda yasiima okutuukiriza byonna mu ye, 20 (B)era mu ye ebintu byonna bitabaganyizibwa gy’ali. Yaleetawo emirembe olw’omusaayi gwe, ogwayika ku musaalaba, alyoke atabaganye eby’ensi n’eby’omu ggulu.

Read full chapter

(A)kale nno Mukama anaatera okubaleetako
    amazzi ag’Omugga, ag’amaanyi era amayitirivu,
    ye kabaka w’e Bwasuli n’ekitiibwa kye kyonna;
galisukka ensalosalo zonna,
    ne ganjaala ku ttale lyonna.

Read full chapter

24 (A)Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye kyava ayogera nti,

“Mmwe abantu bange ababeera mu Sayuuni,
    temutyanga Abasuli,
newaakubadde nga babakuba n’oluga
    era nga babagololera omuggo nga Abamisiri bwe baakola.
25 (B)Kubanga mu kaseera katono nnyo
    obusungu bwange gy’oli bujja kukoma era ekiruyi kyange kiribazikiriza.”

26 (C)Mukama Katonda ow’Eggye alibakuba n’akaswanyu
    nga bwe yakuba aba Midiyaani ku lwazi lw’e Olebu.
Era aligololera oluga lwe ku nnyanja
    nga bwe yakola e Misiri.
27 (D)Ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggyibwa ku bibegabega byo,
    n’ekikoligo kye kive ku nsingo yo;
ekikoligo kirimenyebwa
    olw’obugevvu bwo.

Read full chapter