Isaaya 10:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango
ne mu kuzikirira okuliva ewala?
Muliddukira w’ani alibayamba?
Obugagga bwammwe mulibuleka wa?
Yeremiya 5:31
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
31 (A)Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba,
bakabona bafugisa buyinza bwabwe ate abantu bange bwe batyo bwe bakyagala.
Naye ku nkomerero
munaakola mutya?”
Koseya 2:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ndikomya ebinyumu bye byonna, n’embaga ze eza buli mwaka,
n’embaga ze ez’emyezi egyakaboneka, ne ssabbiiti ze,
n’enkuŋŋaana ze zonna entukuvu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.