Isaaya 5:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Zibasanze abo abazira mu kunywa omwenge
era mu kutabula ekitamiiza,
Isaaya 28:7-8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Ne bano nabo batagala olw’omwenge,
era bawabye olw’ekitamiiza;
Bakabona ne bannabbi batagala olw’ekitamiiza,
era bawabye olw’omwenge;
bawabye olw’ekitamiiza,
batagala ne bava mu kwolesebwa,
era tebasalawo nsonga.
8 (B)Weewaawo emmeeza zonna ziriko ebisesemye,
tewakyali kifo kiyonjo.
Isaaya 56:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Bagambagana nti,
“Mujje, leka tukime omwenge tunywe tutamiire.
N’olw’enkya lunaku ng’olwa leero,
oba n’okusingawo.”
Lukka 17:26-29
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)“Nga bwe kyali mu biseera bya Nuuwa, era bwe kityo bwe kiriba ne mu biseera by’Omwana w’Omuntu. 27 Abantu baali balya nga banywa nga bawasa era nga bafumbirwa okutuusa ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato. Olwo amataba ne gajja ne gasaanyaawo buli kintu.
28 (B)“Era kiriba nga bwe kyali mu nnaku za Lutti. Abantu baali balya nga banywa, nga bagula era nga batunda, nga balima era nga bazimba amayumba, 29 okutuusa ku lunaku Lutti lwe yava mu Sodomu. Olwo omuliro n’olunyata ne biyiika okuva mu ggulu ne bizikiriza buli kimu.
Read full chapter
1 Abakkolinso 15:32
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
32 (A)Kale obanga nze omuntu obuntu nalwana n’ensolo enkambwe mu Efeso, kingasa ki? Obanga abafu tebazuukizibwa,
“Kale tulye tunywe
kubanga enkya tuli ba kufa.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.