Add parallel Print Page Options

(A)Waggulu we yali waali wayimiriddewo basseraafi: buli omu ng’alina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bye bibikka ku maaso ge, ebibiri nga bye bibikka ku bigere bye, n’ebibiri ng’abibuusa.

Read full chapter

(A)Buli omu yali ng’ayogera ne munne n’eddoboozi ery’omwanguka nti,

“Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna:
    ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”

Read full chapter

(A)“Nze Alufa ne Omega,”[a] bw’ayogera Mukama Katonda, “oyo aliwo, eyabaawo era alikomawo, Ayinzabyonna.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:8 Alufa ne Omega ze nnukuta ez’Oluyonaani. Alufa y’esooka, Omega n’esembayo. Katonda ye ntandikwa era ye nkomerero

Okulamusa n’Okutendereza Mukama

(A)Nze Yokaana mpandiikira Ekkanisa omusanvu eziri mu Asiya.

Mbagaliza ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda oyo aliwo, era eyaliwo era alibaawo; n’ebiva eri emyoyo omusanvu egiri mu maaso g’entebe ye ey’obwakabaka,[a]

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:4 Amakanisa omusanvu gaali geeyawudde kilomita amakumi ataano nga gali mu ngeri ya nnekulungo, okuva ku Efeso okutuuka ku Lawodikiya, ekiri mu buvanjuba bwa Efeso. Ekitabo kyonna ekya kubikkulirwa kyaweerezebwa mu buli kkanisa