Add parallel Print Page Options

20 (A)Naye Mukama ali mu yeekaalu ye entukuvu:
    ensi zonna zisiriikirire mu maaso ge.”

Read full chapter

13 (A)Musiriikirire, abantu mwenna mu maaso ga Mukama, kubanga asituse okuva mu kifo kye ekitukuvu.”

Read full chapter

Olunaku lwa Mukama Olukulu

14 (A)Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi;
    ddala lunaatera okutuuka.
Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi,
    n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.

Read full chapter

(A)Mukungubage, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi,
    lulijja ng’okuzikirira okuva eri Mukama Katonda bwe kuba!

Read full chapter

Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi,
    kiriko amasavu,
omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi,
    amasavu agava mu nsingo za sseddume.
Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula,
    era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu.

Read full chapter

10 (A)Naye olunaku olwo lwa Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
    olunaku olw’okuwalanirako eggwanga, olw’okusalira abalabe omusango.
Ekitala kijja kulya nga kimaliddwa,
    okutuusa nga kyemazeeko ennyonta y’omusaayi.
Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
    alibawaayo babeere ng’ekiweebwayo mu nsi ey’obukiikakkono ku Mugga Fulaati.

Read full chapter