Add parallel Print Page Options

Okusaba kwa Kaabakuuku

Okusaba kwa nnabbi Kaabakuuku, okw’Ekisigiyonosi.

(A)Ayi Mukama, mpulidde ebigambo byo;
    mpulidde ettutumu lyo Ayi Mukama, ne ntya.
Bizze buggya mu nnaku zaffe,
    bimanyise mu biro bino,
    era mu busungu jjukira okusaasira.

(B)Katonda yajja ng’ava e Temani,
    Omutukuvu oyo ng’ava ku lusozi Palani.
Ekitiibwa kye kyatimbibwa ku ggulu,
    ensi n’eryoka ejjula ettendo lye.
Okumasamasa kwe ne kulyoka kubeera ng’enjuba evaayo.
    Ebimyanso byayakanga okuva mu mukono gwe,
    era omwo mwe mwasinziiranga amaanyi ge ag’ekitalo.
Kawumpuli ye yakulembera,
    Endwadde endala zinaamutta ne zigoberera.
(C)Yayimirira n’anyeenyanyeenya ensi;
    Yatunula n’akankanya amawanga.
Ensozi ez’edda za merenguka,
    obusozi obw’edda ne buggwaawo. Engeri ze, za mirembe na mirembe.
(D)Nalaba eweema z’e Kusani nga ziri mu nnaku:
    n’entimbe ez’ensi ya Midiyaani nga zijugumira.

(E)Ayi Mukama, wanyiigira emigga?
    Obusungu bwo bwali ku bugga obutono?
Wanyiigira ennyanja
    bwe weebagala embalaasi zo,
    n’olinnya ku magaali go ag’obuwanguzi?
(F)Wasowolayo akasaale ko,
    wategeka okulasa obusaale;
ensi n’ogyawulayawulamu n’emigga.
10     (G)Ensozi zaakulaba, ne zeenyogootola;
Amataba ne gayitawo mbiro,
    obuziba bw’ennyanja ne buwuluguma,
    ne busitula amayengo gaayo waggulu.

11 (H)Enjuba n’omwezi ne biyimirira butengerera mu bifo byabyo,
    olw’okumyansa kw’obusaale bwo nga buwenyuka,
    n’olw’okumyansa kw’effumu lyo eritemagana.
12 (I)Watambula okuyita mu nsi ng’ojjudde ekiruyi,
    wasambirirasambirira amawanga mu busungu bwo.
13 (J)Wavaayo oleetere abantu bo obulokozi,
    olokole gwe wafukako amafuta;
Wabetenta omukulembeze w’ensi ekola ebibi,
    ng’omwerulira ddala okuva ku mutwe okutuuka ku bigere.
14 (K)Wafumita omutwe gwe n’effumu lye ye,
    abalwanyi be bwe baavaayo okutugoba,
nga bali ng’abanaatumalawo,
    ffe abaali baweddemu essuubi nga twekwese.
15 (L)Walinnyirira ennyanja n’embalaasi zo,
    n’otabangula amazzi amangi.

Okusanyukira mu Mukama

16 Nawulira, n’omutima gwange ne gukankana
    n’emimwa gyange gijugumira olw’eddoboozi eryo;
Obuvundu ne buyingira mu magumba gange,
    amagulu gange ne gakankana.
Naye nnaalindirira n’obugumiikiriza olunaku olw’okulabiramu ennaku
    bwe lulijjira eggwanga eritulumba.
17 (M)Wadde omutiini tegutojjera,
    so n’emizabbibu nga tegiriiko bibala,
amakungula g’emizeeyituuni ne gabula,
    ennimiro ne zitabala mmere n’akamu,
endiga nga ziweddemu mu kisibo,
    nga n’ente tezikyalimu mu biraalo,
18 (N)kyokka ndijaguliza Mukama,
    ne nsanyukira mu Katonda Omulokozi wange.

19 (O)Mukama Katonda, ge maanyi gange;
    afuula ebigere byange okuba ng’eby’empeewo,
    era ansobozesa okutambulira mu bifo ebigulumivu.

Ya Mukulu wa Bayimbi, ku bivuga byange ebirina enkoba.