Add parallel Print Page Options

Okukoowoola olw’Okuddaabiriza Ennyumba ya Mukama

(A)Mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’omukaaga, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi okutegeeza Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nti:

Read full chapter

14 (A)Awo Mukama n’akubiriza omutima gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, n’omutima gwa Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu, n’emitima egy’abantu bonna abaasigalawo, ne bajja ne batandika omulimu ku nnyumba ya Mukama ow’Eggye, Katonda waabwe,

Read full chapter

(A)Singa Mukama ow’Eggye
    teyatulekerawo bantu abatonotono abaasigalawo
twandibadde nga Sodomu,
    twandifuuse nga Ggomola.

Read full chapter

“Yogera ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu, n’abantu abaasigalawo, obabuuze nti,

Read full chapter

10 (A)Ani ku mmwe atya Mukama,
    agondera ekigambo ky’omuweereza we?
Oyo atambulira mu kizikiza,
    atalina kitangaala
yeesige erinnya lya Mukama
    era yeesigame ku Katonda we.

Read full chapter

12 (A)Okuŋŋaanyanga[a] abantu: abasajja, n’abakazi, n’abaana, ne bannamawanga abanaaberanga mu bibuga byo, balyoke bawulirizenga era bayigenga okutya Mukama Katonda wammwe, era bagobererenga n’obwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano.

Read full chapter

Footnotes

  1. 31:12 Ye mbaga yokka eyabeerangako abakyala n’abaana, nga bazze okuwuliriza ebyasomebwanga mu Mateeka.