Add parallel Print Page Options

(A)Naye ab’ennyumba ya Yuda ndibaagala, era ndibalokola, si na kasaale, newaakubadde ekitala, newaakubadde entalo, newaakubadde embalaasi newaakubadde abeebagala embalaasi, wabula nze kennyini Mukama Katonda waabwe nze ndibaagala era ne mbalokola.”

Read full chapter

(A)Awo n’addamu n’aŋŋamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi: ‘Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa Mwoyo wange,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

Read full chapter

(A)Yonasaani n’agamba omuvubuka eyasitulanga ebyokulwanyisa bye nti, Jjangu tugende mu nkambi y’abasajja abo abatali bakomole, oboolyawo Mukama anaatukolera ekyamagero. Kubanga tewali kiyinza kuziyiza Mukama kulokola, ng’akozesa abangi oba abatono.

Read full chapter

11 (A)Awo Asa n’akoowoola Mukama Katonda we ng’agamba nti, “Mukama, tewali akwenkana mu kuyamba abanafu, nga balumbiddwa ab’amaanyi. Tuyambe Ayi Mukama Katonda waffe, kubanga twesize ggwe, era mu linnya lyo tuzze okutabaala eggye lino eddene. Ayi Mukama, oli Katonda waffe, toganya muntu yenna okutuwangula.”

Read full chapter

15 (A)N’ayogera nti, “Kabaka Yekosafaati, ne Yuda yenna, n’abatuuze ba Yerusaalemi, kino Mukama ky’abagamba nti, ‘Temutya era temuggwaamu mwoyo olw’eggye eryo eddene, kubanga olutalo si lwammwe, naye lwa Katonda.

Read full chapter

(A)Ddala ddala omutego gwange ogw’obusaale si gwe neesiga,
    n’ekitala kyange si kye kimpa obuwanguzi.
(B)Wabula ggwe otulokola mu balabe baffe,
    n’oswaza abo abatuyigganya.

Read full chapter