Add parallel Print Page Options

14 (A)“Ndibanunulayo mu maanyi g’emagombe,
    era ndibalokola mu kufa.
Ggwe kufa, endwadde zo ziri ludda wa?
    Ggwe Magombe, okuzikiriza kwo kuli ludda wa?

“Sirimusaasira,

Read full chapter

54 (A)Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, “Okufa kuwanguddwa.”

55 (B)“Ggwe kufa, obuwanguzi bwo buluwa?
    Ggwe kufa, amaanyi go agalumya galuwa?”

Read full chapter

19 (A)Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw’olimukaabira ng’omusaba akuyambe. Amangwago ng’awulidde, alikwanukula.

Read full chapter

10     (A)N’abantu ba Mukama abaanunulibwa balikomawo, ne bajja mu Sayuuni nga bayimba,
    n’essanyu eritaggwaawo nga libajjudde.
Balifuna essanyu lingi nnyo n’okujaguza,
    okunakuwala n’okusinda nga biggweereddewo ddala.

Read full chapter

11 (A)N’abo Mukama be wawonya
    balikomawo
    ne bajja mu Sayuuni nga bayimba.
Essanyu ery’emirembe n’emirembe liriba nga ngule ku mitwe gyabwe.
    Balisanyuka ne bajaguza; ennaku n’okusinda bibadduke.

Read full chapter

19 (A)Ndijaguza olwa Yerusaalemi
    era nsanyukire abantu bange;
amaloboozi ag’okukaaba
    tegaliddayo kuwulirwamu.

Read full chapter

17 (A)kubanga Omwana gw’Endiga ayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka,
    y’anaabeeranga omusumba waabwe
era y’anaabakulemberanga okubatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu.
    Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.”

Read full chapter

(A)Alisangula amaziga mu maaso gaabwe, olwo nga tewakyali kufa, wadde ennaku, wadde okukaaba, wadde okulumwa kubanga byonna ebyasooka nga biweddewo.”

Read full chapter

11 (A)“Mulina omukisa mmwe, bwe banaabavumanga, ne babayigganya, ne baboogerako ebibi ebya buli ngeri, ne babawaayiriza, nga babalanga nze.

Read full chapter

14 (A)Mulina omukisa bwe muvumibwa olw’erinnya lya Kristo kubanga Omwoyo ow’ekitiibwa owa Katonda ali ku mmwe.

Read full chapter