Add parallel Print Page Options

(A)Kubanga njagala ekisa so si ssaddaaka,
    era n’okumanya Katonda, okusinga ebiweebwayo ebyokebwa.

Read full chapter

(A)Mwebuuza nti kiki kye nnaaleeta mu maaso ga Mukama
    nvuuname mu maaso ga Katonda agulumizibwa?
Mmusemberere n’ebiweebwayo ebyokebwa,
    n’ennyana ezaakamala omwaka ogumu?
(B)Mukama alisiima endiga eza sseddume olukumi,
    oba emitwalo gy’emigga gy’amafuta?
Mpeeyo omwana wange omubereberye olw’ebibi byange,
    nga mpaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi eky’emmeeme yange?
(C)Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.
    Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,
okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa
    era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.

Read full chapter

(A)Naye singa mumanyi amakulu ga kino nti, ‘Njagala mubeerenga ba kisa okusinga okuwangayo ssaddaaka,’ temwandinenyezza bataliiko musango.

Read full chapter

15 (A)Ekigambo kino kituufu, kisaanye okukkiriza, ekigamba nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi. Mu bo nze mwonoonyi asookera ddala.

Read full chapter