Add parallel Print Page Options

(A)Tebaliwaayo biweebwayo ebya wayini eri Mukama,
    so ne ssaddaaka zaabwe tezirimusanyusa.
Ssaddaaka zaabwe ziriba ng’emmere ey’abakungubazi,
    ne bonna abaliziryako balifuuka abatali balongoofu.
Emmere eyo eriba yaabwe bo,
    so teriyingizibwa mu yeekaalu ya Mukama.

Read full chapter

14 (A)Ani amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa,
    n’abawa omukisa gwe
ne musobola n’okuwaayo eri Mukama Katonda wammwe
    ekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa?

Read full chapter

17 (A)Bakabona abaweereza ba Mukama
    bayimirire wakati w’ekisasi kya yeekaalu n’ekyoto,
bakaabirire Mukama nga bamusaba nti, “Saasira abantu bo, Ayi Mukama;
    abantu b’obusika bwo tobaleka kugwa mu mikono gya bannamawanga okubafuga
    era n’okubasekerera.
Bannamawanga baleme kuduula nga boogera nti,
    ‘Katonda waabwe ali ludda wa?’ ”

Read full chapter