Lukka 1:78-79
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
78 (A)Byonna birituukirira olw’ekisa kya Katonda waffe ekingi.
Emmambya esala eritukyalira okuva mu ggulu,
79 (B)okwakira abo abatudde mu kizikiza
ne mu kisiikirize eky’okufa,
okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe.”
Isaaya 32:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Olwo amaaso gaabo abalaba tegaliziba,
n’amatu g’abo abawulira galiwuliriza.
Lukka 3:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 Buli kiwonvu kirijjuzibwa,
na buli lusozi n’akasozi birisendebwa,
na buli ekyakyama kirigololwa,
n’obukubo obulimu obugulumugulumu bulifuuka enguudo ez’omuseetwe.
Abaebbulaniya 13:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Mwewalenga omululu, bye mulina bibamalenga. Kubanga Katonda yagamba nti,
“Sirikuleka
era sirikwabulira n’akatono.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.