Add parallel Print Page Options

Abantu bangi bagezezzaako okuwandiika ebyafaayo ebyatuukirizibwa mu ffe, (A)ng’abo abaasooka edda bwe baabitubuulira, nga be baali abajulirwa era abaweereza b’Ekigambo okuviira ddala ku lubereberye. (B)Bwe ntyo bwe mmaze okukakasiza ddala buli kintu n’obwegendereza okuva ku by’olubereberye okutuukira ddala ku byasembayo, ne ndaba nga kirungi okukuwandiikira ggwe Teefiro ow’ekitiibwa ennyo, ndyoke mbikuwandiikire nga bwe byaliraanagana. (C)Olyoke omanye amazima g’ebyo bye wayigirizibwa.

Okulanga Okuzaalibwa kwa Yokaana Omubatiza

(D)Awo mu biro Kabaka Kerode we yafugira Obuyudaaya, waaliwo kabona erinnya lye Zaakaliya, nga wa mu kitongole kya Abiya, nga mukyala we naye yali wa mu kika kya Alooni, erinnya lye Erisabesi. (E)Abantu abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, era nga batambulira mu mateeka ga Katonda gonna, ne mu biragiro bya Mukama, nga tebaliiko kya kunenyezebwa. Bombi baali bakaddiye nnyo, era tebaalina mwana, kubanga Erisabesi yali mugumba.

(F)Awo lwali lumu, Zaakaliya bwe yali ng’ali ku mulimu gwe ogw’obwakabona mu maaso ga Katonda, kubanga kye kyali ekiseera eky’oluwalo lwe, (G)n’alondebwa okwoteza obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ng’emirimu gy’obwakabona bwe gyabanga. 10 (H)Mu ssaawa eyo ey’okwoteza obubaane ekibiina kyonna eky’abantu baali bakuŋŋaanidde mu luggya lwa Yeekaalu.

11 (I)Awo malayika wa Mukama n’alabikira Zaakaliya, n’ayimirira ku luuyi olwa ddyo olw’ekyoto okwoterezebwa obubaane! 12 (J)Zaakaliya n’atya nnyo bwe yalaba malayika, entiisa n’emukwata. 13 (K)Naye malayika n’amugamba nti, “Totya Zaakaliya! Kubanga okusaba kwo kuwuliddwa, era mukazi wo Erisabesi ajja kukuzaalira omwana wabulenzi. Olimutuuma erinnya Yokaana. 14 (L)Mwembi mulisanyuka nnyo ne mujaguza. Era bangi abalibasanyukirako olw’okuzaalibwa kwe. 15 (M)Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Katonda. Talinywa mwenge wadde ekitamiiza kyonna. Era alijjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ng’akyali mu lubuto lwa nnyina. 16 Era alireetera abaana ba Isirayiri bangi okudda eri Mukama Katonda waabwe. 17 (N)Aliweerereza mu mwoyo ne mu maanyi aga nnabbi Eriya, n’akyusa emitima gy’aba kitaabwe okudda eri abaana baabwe, n’okukyusa emitima gy’abajeemu okudda eri amagezi g’abatuukirivu alyoke ateeketeeke abantu okulindirira Mukama.”

18 (O)Zaakaliya n’agamba malayika nti, “Ekyo nnaakimanya ntya? Kubanga nze ndi mukadde, ne mukazi wange naye akaddiya nnyo.”

19 (P)Malayika n’amugamba nti, “Nze Gabulyeri ayimirira mu maaso ga Katonda, era y’antumye okwogera naawe n’okukuleetera amawulire gano. 20 (Q)Naye olw’okuba nga tokkirizza bigambo byange, ojja kuziba omumwa, era togenda kuddamu kwogera okutuusa ng’ebintu ebyo bimaze okubaawo. Kubanga ebigambo byange byonna birimala kutuukirira mu kiseera kyabyo.”

21 Abantu abaali balindirira ebweru wa Yeekaalu okulaba Zaakaliya ne beewuunya nnyo ekyamulwisaayo ennyo bw’atyo. 22 (R)Oluvannyuma ennyo bwe yavaayo, yali tasobola kwogera nabo, ne bategeera nga mu Yeekaalu afuniddeyo okwolesebwa. N’asigala ng’azibye omumwa naye ng’abategeeza mu bubonero.

23 N’abeera mu Yeekaalu okutuusa ennaku ze ez’oluwalo lwe zaggwaako n’alyoka addayo eka. 24 Ennaku ezo bwe zaayitawo, mukazi we Erisabesi n’aba olubuto, ne yeekwekera ebbanga lya myezi etaano. 25 (S)N’agamba nti, “Mukama nga wa kisa kingi, kubanga anziggyeeko ensonyi olw’obutaba na mwana.”

Okuzaalibwa kwa Yesu Kulangibwa

26 (T)Awo mu mwezi ogw’omukaaga, Katonda n’atuma malayika Gabulyeri mu kibuga Nazaaleesi eky’omu Ggaliraaya 27 (U)eri omuwala erinnya lye Maliyamu, nga tamanyi musajja, eyali ayogerezebwa omusajja erinnya lye Yusufu, ow’omu lulyo lwa Dawudi. 28 Awo Gabulyeri n’alabikira Maliyamu n’amulamusa nti, “Mirembe! Ggwe aweereddwa omukisa! Mukama ali naawe!”

29 Maliyamu n’atya, n’abulwa n’ekyokwogera, ng’okulamusa okwo kumutabudde, nga n’amakulu gaakwo tagategeera. 30 (V)Awo malayika n’amugamba nti, “Totya, Maliyamu, kubanga olabye ekisa mu maaso ga Katonda. 31 (W)Kubanga, laba, olibeera olubuto, olizaala omwana wabulenzi era olimutuuma erinnya, Yesu. 32 (X)Agenda kuba mukulu, wa kitiibwa, era aliyitibwa Omwana w’Oyo Ali Waggulu Ennyo, era Mukama Katonda alimuwa entebe ey’obwakabaka eya jjajjaawe Dawudi. 33 (Y)Alifuga ennyumba ya Yakobo emirembe gyonna, era n’obwakabaka bwe tebulikoma.”

34 Awo Maliyamu n’abuuza malayika nti, “Ekyo kiriba kitya? Kubanga simanyi musajja.”

35 (Z)Malayika n’amuddamu nti, “Mwoyo Mutukuvu alikukkako, n’amaanyi g’Oyo Ali Waggulu Ennyo galikubuutikira, n’omwana alizaalibwa aliba mutukuvu, Omwana wa Katonda. 36 Laba, muganda wo Erisabesi eyayitibwanga omugumba, kati ali lubuto lwa myezi mukaaga mu bukadde bwe. 37 (AA)Kubanga buli kigambo kiyinzika eri Katonda.”

38 Maliyamu n’addamu nti, “Nze ndi muweereza wa Mukama, kibe ku nze nga bw’ogambye.” Malayika n’ava w’ali, n’agenda.

Maliyamu Akyalira Erisabesi

39 (AB)Awo mu biro ebyo, Maliyamu n’ayanguwa okugenda mu nsi ya Buyudaaya ey’ensozi, mu kibuga kyayo. 40 N’ayingira mu nnyumba ya Zaakaliya n’alamusa Erisabesi. 41 Naye Maliyamu bwe yalamusa Erisabesi, omwana eyali mu lubuto lwa Erisabesi n’abuukabuuka era n’ajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu. 42 (AC)Erisabesi n’alyoka ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Oweereddwa omukisa, ggwe mu bakazi, era n’omwana ali mu lubuto lwo aweereddwa omukisa. 43 Nga nfunye ekitiibwa kinene ggwe nnyina wa Mukama wange okujja okunkyalira! 44 Kubanga bw’oyingidde n’onnamusa, omwana ali mu lubuto lwange oluwulidde ku ddoboozi lyo ne yeekyusakyusa olw’essanyu! 45 Oweereddwa omukisa bw’okkirizza nti ebintu ebyo Mukama bya kwogeddeko birituukirizibwa.”

Oluyimba lwa Maliyamu

46 (AD)Maliyamu n’agamba nti,

47 (AE)“Emmeeme yange etendereza Mukama.
    N’omwoyo gwange gusanyukidde Katonda omulokozi wange,
48 (AF)Kubanga alabye
    obuwombeefu bw’omuweereza we.
Kubanga laba, okuva kaakano, ab’emirembe gyonna banaampitanga eyaweebwa omukisa.
49     (AG)Kubanga Owaamaanyi ankoledde ebikulu;
    N’erinnya lye ttukuvu.
50 (AH)N’okusaasira kwe kwa mirembe na mirembe
    eri abo abamutya.
51 (AI)Akoze eby’amaanyi n’omukono gwe.
    Asaasaanyizza ab’emitima egy’amalala.
52 Awanudde abafuzi ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka
    n’agulumiza abawombeefu.
53 (AJ)Abali mu kwetaaga abakkusizza ebirungi.
    Naye abagagga n’abagoba nga tabawaddeeyo kantu.
54 (AK)Adduukiridde omuweereza we Isirayiri,
    n’ajjukira okusaasira,
55 (AL)nga bwe yayogera ne bajjajjaffe,
    eri Ibulayimu n’ezzadde lye emirembe gyonna.”

56 Maliyamu n’amala ewa Erisabesi muganda we, ng’emyezi esatu, n’alyoka addayo ewuwe.

Okuzaalibwa kwa Yokaana

57 Awo ekiseera kya Erisabesi eky’okuzaala ne kituuka, n’azaala omwana wabulenzi. 58 Baliraanwa ba Erisabesi n’ab’ekika kye ne bawulira nga Mukama bw’amulaze ekisa, ne basanyukira wamu naye.

59 (AM)Awo omwana bwe yaweza ennaku omunaana, ne bajja okumukomola, bonna nga balowooza nti ajja kutuumibwa erinnya lya kitaawe Zaakaliya. 60 (AN)Naye Erisabesi n’abagamba nti, “Nedda, ajja kutuumibwa Yokaana.”

61 Ne bamuwakanya nga bagamba nti, “Mu kika kyo kyonna tetuwulirangayo yatuumibwa linnya eryo.”

62 (AO)Ne babuuza kitaawe w’omwana erinnya ly’ayagala atuumibwe. 63 (AP)N’abasaba eky’okuwandiikako, n’awandiikako nti, “Erinnya lye ye Yokaana!” Bonna ne beewuunya nnyo! 64 (AQ)Amangwago akamwa ka Zaakaliya ne kagguka, n’olulimi lwe ne lusumulukuka, n’atandika okwogera n’okutendereza Katonda. 65 (AR)Abantu bonna ab’omu kitundu ekyo ne batya nnyo, era ebigambo ebyo ne bibuna mu nsi yonna ey’e Buyudaaya ey’ensozi. 66 (AS)Buli eyawulira ebigambo ebyo n’abirowoozaako nnyo mu mutima gwe, ne yeebuuza nti, “Naye omwana ono bw’alikula aliba atya?” Kubanga awatali kubuusabuusa, omukono gwa Mukama gwali wamu naye.

Oluyimba lwa Zaakaliya

67 (AT)Awo Zaakaliya kitaawe, n’ajjula Mwoyo Mutukuvu n’awa obunnabbi nti,

68 (AU)“Atenderezebwe Mukama Katonda wa Isirayiri,
    kubanga akyalidde abantu be, era abanunudde.
69 (AV)Yatuyimusiriza obuyinza obw’obulokozi,
    mu nnyumba y’omuddu we Dawudi.
70 (AW)Nga bwe yasuubiriza mu bigambo bya bannabbi be abatukuvu ab’edda ennyo,
71 Okulokolebwa mu balabe baffe,
    n’okuva mu mukono gw’abo bonna abatukyawa,
72 (AX)okulaga bajjajjaffe ekisa,
    n’ajjukira n’endagaano ye entukuvu,
73     (AY)ekirayiro kye yalayirira jjajjaffe Ibulayimu,
74 (AZ)okukituukiriza, n’okulokolebwa okuva mu mukono gw’abalabe baffe awatali kutya,
    tulyoke tuweereze mu maaso ge,
75     (BA)mu butukuvu ne mu butuukirivu ennaku zonna ez’obulamu bwaffe.

76 (BB)“Naawe, mwana wange, oliyitibwa nnabbi w’Oyo Ali Waggulu Ennyo;
    kubanga gw’olikulembera Mukama okumuteekerateekera amakubo ge.
77 (BC)Okumanyisa abantu be obulokozi,
    obw’okusonyiyibwa ebibi byabwe.
78 (BD)Byonna birituukirira olw’ekisa kya Katonda waffe ekingi.
    Emmambya esala eritukyalira okuva mu ggulu,
79 (BE)okwakira abo abatudde mu kizikiza
    ne mu kisiikirize eky’okufa,
okuluŋŋamya ebigere byaffe mu kkubo ery’emirembe.”

80 (BF)Omwana n’akula n’ayongerwako amaanyi mu mwoyo, n’abeera mu malungu okutuusa ku lunaku lwe yayolesebwa eri Isirayiri.

Introduction(A)

Many have undertaken to draw up an account of the things that have been fulfilled[a] among us, just as they were handed down to us by those who from the first(B) were eyewitnesses(C) and servants of the word.(D) With this in mind, since I myself have carefully investigated everything from the beginning, I too decided to write an orderly account(E) for you, most excellent(F) Theophilus,(G) so that you may know the certainty of the things you have been taught.(H)

The Birth of John the Baptist Foretold

In the time of Herod king of Judea(I) there was a priest named Zechariah, who belonged to the priestly division of Abijah;(J) his wife Elizabeth was also a descendant of Aaron. Both of them were righteous in the sight of God, observing all the Lord’s commands and decrees blamelessly.(K) But they were childless because Elizabeth was not able to conceive, and they were both very old.

Once when Zechariah’s division was on duty and he was serving as priest before God,(L) he was chosen by lot,(M) according to the custom of the priesthood, to go into the temple of the Lord and burn incense.(N) 10 And when the time for the burning of incense came, all the assembled worshipers were praying outside.(O)

11 Then an angel(P) of the Lord appeared to him, standing at the right side of the altar of incense.(Q) 12 When Zechariah saw him, he was startled and was gripped with fear.(R) 13 But the angel said to him: “Do not be afraid,(S) Zechariah; your prayer has been heard. Your wife Elizabeth will bear you a son, and you are to call him John.(T) 14 He will be a joy and delight to you, and many will rejoice because of his birth,(U) 15 for he will be great in the sight of the Lord. He is never to take wine or other fermented drink,(V) and he will be filled with the Holy Spirit(W) even before he is born.(X) 16 He will bring back many of the people of Israel to the Lord their God. 17 And he will go on before the Lord,(Y) in the spirit and power of Elijah,(Z) to turn the hearts of the parents to their children(AA) and the disobedient to the wisdom of the righteous—to make ready a people prepared for the Lord.”(AB)

18 Zechariah asked the angel, “How can I be sure of this?(AC) I am an old man and my wife is well along in years.”(AD)

19 The angel said to him, “I am Gabriel.(AE) I stand in the presence of God, and I have been sent to speak to you and to tell you this good news. 20 And now you will be silent and not able to speak(AF) until the day this happens, because you did not believe my words, which will come true at their appointed time.”

21 Meanwhile, the people were waiting for Zechariah and wondering why he stayed so long in the temple. 22 When he came out, he could not speak to them. They realized he had seen a vision in the temple, for he kept making signs(AG) to them but remained unable to speak.

23 When his time of service was completed, he returned home. 24 After this his wife Elizabeth became pregnant and for five months remained in seclusion. 25 “The Lord has done this for me,” she said. “In these days he has shown his favor and taken away my disgrace(AH) among the people.”

The Birth of Jesus Foretold

26 In the sixth month of Elizabeth’s pregnancy, God sent the angel Gabriel(AI) to Nazareth,(AJ) a town in Galilee, 27 to a virgin pledged to be married to a man named Joseph,(AK) a descendant of David. The virgin’s name was Mary. 28 The angel went to her and said, “Greetings, you who are highly favored! The Lord is with you.”

29 Mary was greatly troubled at his words and wondered what kind of greeting this might be. 30 But the angel said to her, “Do not be afraid,(AL) Mary; you have found favor with God.(AM) 31 You will conceive and give birth to a son, and you are to call him Jesus.(AN) 32 He will be great and will be called the Son of the Most High.(AO) The Lord God will give him the throne of his father David,(AP) 33 and he will reign over Jacob’s descendants forever; his kingdom(AQ) will never end.”(AR)

34 “How will this be,” Mary asked the angel, “since I am a virgin?”

35 The angel answered, “The Holy Spirit will come on you,(AS) and the power of the Most High(AT) will overshadow you. So the holy one(AU) to be born will be called[b] the Son of God.(AV) 36 Even Elizabeth your relative is going to have a child(AW) in her old age, and she who was said to be unable to conceive is in her sixth month. 37 For no word from God will ever fail.”(AX)

38 “I am the Lord’s servant,” Mary answered. “May your word to me be fulfilled.” Then the angel left her.

Mary Visits Elizabeth

39 At that time Mary got ready and hurried to a town in the hill country of Judea,(AY) 40 where she entered Zechariah’s home and greeted Elizabeth. 41 When Elizabeth heard Mary’s greeting, the baby leaped in her womb, and Elizabeth was filled with the Holy Spirit.(AZ) 42 In a loud voice she exclaimed: “Blessed are you among women,(BA) and blessed is the child you will bear! 43 But why am I so favored, that the mother of my Lord(BB) should come to me? 44 As soon as the sound of your greeting reached my ears, the baby in my womb leaped for joy. 45 Blessed is she who has believed that the Lord would fulfill his promises to her!”

Mary’s Song(BC)

46 And Mary said:

“My soul glorifies the Lord(BD)
47     and my spirit rejoices in God my Savior,(BE)
48 for he has been mindful
    of the humble state of his servant.(BF)
From now on all generations will call me blessed,(BG)
49     for the Mighty One has done great things(BH) for me—
    holy is his name.(BI)
50 His mercy extends to those who fear him,
    from generation to generation.(BJ)
51 He has performed mighty deeds with his arm;(BK)
    he has scattered those who are proud in their inmost thoughts.(BL)
52 He has brought down rulers from their thrones
    but has lifted up the humble.(BM)
53 He has filled the hungry with good things(BN)
    but has sent the rich away empty.
54 He has helped his servant Israel,
    remembering to be merciful(BO)
55 to Abraham and his descendants(BP) forever,
    just as he promised our ancestors.”

56 Mary stayed with Elizabeth for about three months and then returned home.

The Birth of John the Baptist

57 When it was time for Elizabeth to have her baby, she gave birth to a son. 58 Her neighbors and relatives heard that the Lord had shown her great mercy, and they shared her joy.

59 On the eighth day they came to circumcise(BQ) the child, and they were going to name him after his father Zechariah, 60 but his mother spoke up and said, “No! He is to be called John.”(BR)

61 They said to her, “There is no one among your relatives who has that name.”

62 Then they made signs(BS) to his father, to find out what he would like to name the child. 63 He asked for a writing tablet, and to everyone’s astonishment he wrote, “His name is John.”(BT) 64 Immediately his mouth was opened and his tongue set free, and he began to speak,(BU) praising God. 65 All the neighbors were filled with awe, and throughout the hill country of Judea(BV) people were talking about all these things. 66 Everyone who heard this wondered about it, asking, “What then is this child going to be?” For the Lord’s hand was with him.(BW)

Zechariah’s Song

67 His father Zechariah was filled with the Holy Spirit(BX) and prophesied:(BY)

68 “Praise be to the Lord, the God of Israel,(BZ)
    because he has come to his people and redeemed them.(CA)
69 He has raised up a horn[c](CB) of salvation for us
    in the house of his servant David(CC)
70 (as he said through his holy prophets of long ago),(CD)
71 salvation from our enemies
    and from the hand of all who hate us—
72 to show mercy to our ancestors(CE)
    and to remember his holy covenant,(CF)
73     the oath he swore to our father Abraham:(CG)
74 to rescue us from the hand of our enemies,
    and to enable us to serve him(CH) without fear(CI)
75     in holiness and righteousness(CJ) before him all our days.

76 And you, my child, will be called a prophet(CK) of the Most High;(CL)
    for you will go on before the Lord to prepare the way for him,(CM)
77 to give his people the knowledge of salvation
    through the forgiveness of their sins,(CN)
78 because of the tender mercy of our God,
    by which the rising sun(CO) will come to us from heaven
79 to shine on those living in darkness
    and in the shadow of death,(CP)
to guide our feet into the path of peace.”(CQ)

80 And the child grew and became strong in spirit[d];(CR) and he lived in the wilderness until he appeared publicly to Israel.

Footnotes

  1. Luke 1:1 Or been surely believed
  2. Luke 1:35 Or So the child to be born will be called holy,
  3. Luke 1:69 Horn here symbolizes a strong king.
  4. Luke 1:80 Or in the Spirit