Add parallel Print Page Options

Olugero lwa Nnamwandu n’Omulamuzi

18 (A)Awo Yesu n’agerera abayigirizwa be olugero ng’agamba nga bwe bagwanidde obutakoowanga kusaba n’obutaggwaamu mwoyo, ng’agamba nti,

Read full chapter

Okuba abalamu olw’okukkiriza

16 (A)Noolwekyo tetuterebuka, kubanga newaakubadde ng’emibiri gyaffe gifa, naye omuntu waffe ow’omunda adda buggya bulijjo.

Read full chapter

(A)‘Mwalaba bye nakola Abamisiri, mmwe ne mbasitulira ku biwaawaatiro by’empungu[a] n’embeereetera gye ndi.

Read full chapter

Footnotes

  1. 19:4 empungu Empungu enseera esutulira abaana baayo ku biwaawaatiro byayo ng’ebuuka (Ma 32:11).

(A)Awa emmeeme yo ebintu ebirungi byeyagala;
    obuvubuka bwo ne budda buggya ng’empungu.[a]

Read full chapter

Footnotes

  1. 103:5 Empungu emanyiddwa olw’amaanyi gaayo n’olw’obuwangaazi bwayo.

Eby’obugagga eby’omuwendo mu bibya eby’ebbumba

(A)Noolwekyo nga bwe tulina obuweereza buno bwe twaweebwa olw’okusaasirwa, tuleme kuddirira.

Read full chapter

Katonda akangavvula abaana be

12 (A)Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene eky’abajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu n’ekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga n’okugumiikiriza embiro ez’empaka ezatutegekerwa, (B)nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era y’akutuukiriza, olw’essanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku luuyi olwa ddyo olw’entebe ya Katonda. (C)Kale mulowooze oyo eyagumiikiriza okuwakanyizibwa okw’abakozi b’ebibi bwe kutyo, mulemenga okukoowa mu mmeeme zammwe nga mutendewererwa ne mu mutima.

Read full chapter