Add parallel Print Page Options

29 (A)ne basituka, ne bamusindiikiriza okumutuusa ebweru w’ekibuga ku bbangabanga ly’olusozi ekibuga kyabwe kwe kyazimbibwa, bamusindike agwe eri wansi.

Read full chapter

14 (A)“Eyavvodde mumufulumye ebweru w’olusiisira. Abo bonna abaamuwulidde ng’avvoola bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe; oluvannyuma ekibiina kyonna kiryoke kimukube amayinja.

Read full chapter

16 (A)Oyo yenna anavvoolanga erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga. Ekibiina kyonna kinaamukubanga amayinja. Ne bw’anaabanga omugwira oba Omuyisirayiri, bw’anavvoolanga erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga.

Read full chapter

(A)Omuttiranga ddala. Gw’omusokangako ng’attibwa n’abantu bonna ne bassa okwo.

Read full chapter

20 (A)Era n’omujulirwa wo Suteefano bwe yali attibwa nnali nnyimiridde awo era nga mpagira okuttibwa kwe, era nga ndabirira engoye z’abo abaali bamutta.’

Read full chapter

Ekkanisa Eyigganyizibwa

(A)Sawulo yali omu ku abo abaawagira okuttibwa kwa Suteefano. Era ku lunaku olwo okuyigganya Ekkanisa ne kutandika n’amaanyi mangi nnyo mu Yerusaalemi.

Abakkiriza bonna, okuggyako abatume, ne basaasaanira mu Buyudaaya ne mu Samaliya.

Read full chapter