Add parallel Print Page Options

Oluyimba lwa Maliyamu

46 (A)Maliyamu n’agamba nti,

47 (B)“Emmeeme yange etendereza Mukama.
    N’omwoyo gwange gusanyukidde Katonda omulokozi wange,
48 (C)Kubanga alabye
    obuwombeefu bw’omuweereza we.
Kubanga laba, okuva kaakano, ab’emirembe gyonna banaampitanga eyaweebwa omukisa.
49     (D)Kubanga Owaamaanyi ankoledde ebikulu;
    N’erinnya lye ttukuvu.
50 (E)N’okusaasira kwe kwa mirembe na mirembe
    eri abo abamutya.
51 (F)Akoze eby’amaanyi n’omukono gwe.
    Asaasaanyizza ab’emitima egy’amalala.
52 Awanudde abafuzi ku ntebe zaabwe ez’obwakabaka
    n’agulumiza abawombeefu.
53 (G)Abali mu kwetaaga abakkusizza ebirungi.
    Naye abagagga n’abagoba nga tabawaddeeyo kantu.
54 (H)Adduukiridde omuweereza we Isirayiri,
    n’ajjukira okusaasira,
55 (I)nga bwe yayogera ne bajjajjaffe,
    eri Ibulayimu n’ezzadde lye emirembe gyonna.”

Read full chapter

14 (A)Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu
    mu miryango[a] gy’omuwala wa Sayuuni:
    era njagulizenga mu bulokozi bwo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 9:14 Ensonga enkulu zonna zaateesebwangako mu mulyango gw’ekibuga.

(A)Naye nze neesiga okwagala kwo okutajjulukuka;
    era omutima gwange gunaasanyukiranga mu bulokozi bwo.

Read full chapter

17 (A)Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa.
    Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.

Read full chapter

24 (A)Obwesigwa bwange n’okwagala kwange kunaabanga naye,
    ne mu linnya lyange aneeyongeranga okuba ow’amaanyi.

Read full chapter

10 (A)Naye nze wanfuula wa maanyi okwenkana embogo,
    n’onfukako amafuta amalungi.

Read full chapter

(A)Laba Katonda bwe bulokozi bwange;
    nzija kumwesiga era siritya;
kubanga Mukama Katonda ge maanyi gange era lwe luyimba lwange,
    era afuuse obulokozi bwange.”
(B)Munaasenanga n’essanyu amazzi
    okuva mu nzizi ez’obulokozi.

Read full chapter