Add parallel Print Page Options

20 (A)Nawomi namugamba nti, “Mukama Katonda atalekanga kulaga kisa eri abalamu n’abafu, amuwe omukisa. Anti omusajja oyo muganda waffe ddala, era y’omu ku banunuzi[a] baffe ddala.”

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:20 Omununuzi, ye yali muganda w’omugenzi ow’ennyumba ow’okumpi ennyo, era ye yali ateekwa okununula ettaka lyonna ery’omugenzi. Omununuzi yali ateekwa okuwasa nnamwandu, nnamwandu bwe yabanga tazadde baana (Ma 25:5-10)

(A)Laba Kanameri mutabani wa Sallumu kojjaawo agenda kujja gy’oli akugambe nti, ‘Gula ennimiro yange eri mu Anasosi kubanga ng’owooluganda asinga okuba okumpi guba mukisa gwo era buvunaanyizibwa bwo okugigula.’ 

Read full chapter

13 (A)Nannyini nsolo bw’anaabanga ayagala okuginunulayo, anaasaniranga okugattako ekitundu ekimu ekyokutaano ku muwendo gwayo.

Read full chapter

19 Era oyo anaabanga awaddeyo ennimiro ye bw’anaayagalanga okuginunula, kale anaagattangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwayo, olwo ennimiro n’emuddira.

Read full chapter

31 Omuntu anaayagalanga okununula ku bitundu bye eby’ekkumi, anaagatangako ekitundu kimu kyakutaano ku muwendo gwakyo.

Read full chapter

(A)Ndowoozezza nti nkutegeeze ku nsonga eyo, ekibanja ekyo okigulire mu maaso g’abakadde baffe. Bw’oba ng’oyagala okukinunula kinunule. Naye bw’oba nga toyagala, ntegeeza nkimanye. Tewali mulala alina buyinza kukinunula wabula ggwe, ate nga nze nkuddirira mu lunyiriri lwaffe.”

Omusajja n’addamu nti, “Nzija kukinunula.”

Read full chapter