Add parallel Print Page Options

(A)N’amubuuza nti, “Ggwe ani?” Luusi n’addamu nti, “Nze Luusi omuweereza wo. Mbikkaako ku lugoye lwo kubanga oli mununuzi wa kika[a].”

Read full chapter

Footnotes

  1. 3:9 Omusajja okuddira olugoye lwe n’alubikka omukyala, kaali kabonero akalaga ng’omusajja oyo bwe yeetegese okuwasa omukyala oyo

(A)“Genda olangirire nga Yerusaalemi ewulira nti:

“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Nzijukira okwewaayo kwe weewaayo ng’okyali muto,
    engeri gye wanjagalamu nga twakafumbiriganwa,
wangoberera mu ddungu
    mu nsi etali nnime.

Read full chapter

(A)Aligezaako okugoberera baganzi be abakwate,
    naye talibatuukako, alibanoonya naye talibalaba.
Oluvannyuma alyogera nti, “Naagenda eri bba wange eyasooka,
    kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi
    okusinga bwe ndi kaakano.”

Read full chapter

19 (A)Era ndikwogereza ennaku zonna,
    ndikwogereza mu butuukirivu, ne mu mazima,
    ne mu kwagala ne mu kusaasira.
20 (B)Ndikwogereza mu bwesigwa,
    era olimanya Mukama.

Read full chapter