Add parallel Print Page Options

Okukkiriza kw’Omukazi Omusulofoyiniiki

24 (A)Awo Yesu n’alaga mu bitundu by’e Ttuulo, n’atayagala kitegeerekeke nti ali mu bitundu ebyo, naye ne kitasoboka.

Read full chapter

21 (A)“Zikusanze, ggwe Kolaziini! Zikusanze ggwe Besusayida! Kubanga ebyamagero bye nakolera mu mmwe, singa nabikolera mu Ttuulo ne mu Sidoni, bandibadde beenenya dda nga bali mu bibukutu n’evvu ku mitwe gyabwe.

Read full chapter

Okuyitibwa kw’Abayigirizwa Abaasooka

18 (A)Yesu bwe yali ng’atambula ku lubalama lw’ennyanja y’e Ggaliraaya n’alaba abooluganda babiri: Simooni, gwe bayita Peetero, ne Andereya, nga basuula obutimba bwabwe mu nnyanja, kubanga baali bavubi.

Read full chapter

25 (A)Ebibiina binene ne bimugoberera, abantu nga bava mu Ggaliraaya ne mu Dekapoli,[a] ne mu Yerusaalemi ne mu Buyudaaya yonna, n’emitala w’omugga Yoludaani.

Read full chapter

Footnotes

  1. 4:25 Dekapoli kitegeeza ebibuga ekkumi

20 (A)Awo omusajja oyo n’agenda ng’atambula mu Dekapoli[a] (ebibuga eby’omu kitundu ekyo) ng’abuulira abantu Katonda bye yali amukoledde byonna. Bonna abaabiwulira ne bawuniikirira nnyo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 5:20 dekapoli kitegeeza ebibuga kkumi ebiri awamu