Add parallel Print Page Options

38 (A)Yokaana n’amugamba nti, “Omuyigiriza, twalaba omuntu ng’agoba baddayimooni mu linnya lyo, ne tumuziyiza kubanga tayita naffe.”

Read full chapter

17 (A)Awo abayigirizwa ensavu mu ababiri bwe baakomawo, nga basanyuka ne bategeeza Yesu nti, “Mukama waffe, ne baddayimooni baatugondera mu linnya lyo.”

Read full chapter

16 (A)Ebibiina ne biva mu bibuga ebiriraanye Yerusaalemi, ne baleeta abalwadde n’abaaliko baddayimooni, bonna ne bawonyezebwa.

Read full chapter

(A)Baddayimooni bangi ne bava ku bantu nga bwe baleekaana; abaali bakoozimbye n’abalema bonna ne bawonyezebwa;

Read full chapter

18 (A)Ekyo yakikola okumala ennaku nnyingi Pawulo n’anyiiga. Pawulo kyeyava akyuka n’agamba ddayimooni nti, “Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo, muveeko!” Era amangwago dayimooni n’ava ku muwala.

Read full chapter

13 (A)Waaliwo Abayudaaya abaagendanga nga bagoba baddayimooni ku bantu mu buli kibuga, ne bagezaako okukozesa erinnya lya Mukama waffe Yesu, nga bagamba dayimooni ali ku mulwadde nti, “Mu linnya lya Yesu, Pawulo gw’abuulira, nkulagira omuveeko.” 14 Waaliwo batabani ba Sukewa, eyali kabona omukulu Omuyudaaya, musanvu, nabo abaakolanga bwe batyo. 15 Bwe baakigezaako ku musajja eyaliko dayimooni, dayimooni n’abagamba nti, “Yesu mmumanyi, ne Pawulo mmumanyi, naye mmwe, mmwe b’ani?” 16 N’ababuukira n’abasinza amaanyi bonna, n’abataagulataagula nnyo, ne bafubutuka mu nnyumba nga bali bwereere, era nga baliko ebiwundu.

Read full chapter

(A)Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, ne batandika okwogera ennimi ez’enjawulo nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabasobozesa.

Read full chapter

46 (A)Kubanga baabawulira nga boogera mu nnimi endala nga batendereza Katonda.

Awo Peetero n’agamba nti,

Read full chapter

(A)Pawulo bwe yabassaako emikono gye, Mwoyo Mutukuvu n’abakkako, ne batandika okwogera ennimi endala era n’okuwa obunnabbi.

Read full chapter

10 (A)Omu, Omwoyo amuwa okukolanga ebyamagero, n’omulala n’amuwa okwogera eby’obunnabbi, ate omulala n’amuwa okwawulanga emyoyo emirungi n’emibi. Omulala amuwa okwogera ennimi ezitali zimu, n’omulala n’amuwa okuzivvuunula.

Read full chapter

28 (A)Era abamu Katonda yabateekawo mu kkanisa: abasooka be batume, abookubiri be bannabbi, n’abookusatu be bayigiriza, ne kuddako abakola eby’amagero, ne kuddako abalina ebirabo eby’okuwonya endwadde, n’okuyamba abali mu kwetaaga, abakulembeze, era n’aboogezi b’ennimi.

Read full chapter

30 (A)Bonna balina ekirabo ky’okuwonya endwadde? Bonna boogera mu nnimi? Bonna bavvuunula ennimi?

Read full chapter