Add parallel Print Page Options

(A)Bwe mutaakyuse ku mpisa zammwe n’engeri zammwe, bwe mutaafeeyo kuwa linnya lyange kitiibwa,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “kale ndibasindikira ekikolimo era emikisa gyammwe girifuuka ekikolimo. Ate ddala mmaze okubakolimira kubanga ebikulu gye ndi temubitaddeeko mwoyo.

Read full chapter

20 (A)Batabani bo bazirise,
    bagudde ku buli nsonda y’oluguudo
    ng’engabi egudde mu kitimba.
Babuutikiddwa ekiruyi kya Mukama,
    n’okunenyezebwa kwa Katonda wo.

Read full chapter

15 (A)“Kubanga laba Mukama Katonda alijjira mu muliro,
    era n’amagaali ge ag’embalaasi galiba ng’empewo ey’omuyaga.
Alijja n’obusungu bwe n’ekiruyi
    era alibanenya n’ennimi ez’omuliro.

Read full chapter

26 (A)nkoowoola eggulu n’ensi okubeera abajulirwa bange ku lunaku lwa leero nga mbakuutira mmwe nti, Bwe muneeyonoonanga bwe mutyo, muliggweerawo ddala mu nsi eyo gye mugenda okwefunira okuba obutaka bwammwe, nga mumaze okusomoka Yoludaani. Muligibeeramu akabanga katono ne muzikirizibwa mwenna.

Read full chapter