Add parallel Print Page Options

14 (A)Buli atabasembezenga wadde okuwuliriza ebigambo byammwe, bwe mubanga muva mu kibuga ekyo oba mu nnyumba eyo, mukunkumulanga enfuufu[a] ey’oku bigere byammwe.

Read full chapter

Footnotes

  1. 10:14 Omuntu okukunkumulira omulala enfuufu y’ebigere bye, kaali kabonero akaakolebwanga Abafalisaayo nga bava mu bitundu bannamawanga gye baabeeranga, ebyalowoozebwanga okuba ebitali birongoofu.

(A)Naye Abayudaaya bwe baatandika okumuwakanya, era n’okuvvoola erinnya lya Yesu, n’akunkumula ebyambalo bye, n’abagamba nti, “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze ndi mulongoofu. Okuva kaakano nnaagendanga eri Abaamawanga.”

Read full chapter

15 (A)“Akolimirwe omuntu yenna akola ekifaananyi ekitali Katonda oba abumba ekintu ng’ekyo kyonna Mukama ky’akyayira ddala nga kikolebwa omukozi nnakinku, omuntu oyo n’abaako ne wakiyimiriza mu kyama.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

16 (B)“Akolimirwe omuntu yenna atassaamu kitiibwa kitaawe oba nnyina.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

17 (C)“Akolimirwe omuntu yenna akyusa ekituuti ekiraga ensalo ya muliraanwa we.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

18 (D)“Akolimirwe omuntu yenna aggya omuzibe w’amaaso mu kkubo ettuufu n’amubuza.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

19 (E)“Akolimirwe omuntu yenna atalaga bwenkanya eri bannamawanga, oba bamulekwa oba bannamwandu.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

20 (F)“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne muka kitaawe, kubanga ekitanda kya kitaawe akimalamu ekitiibwa.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

21 (G)“Akolimirwe omuntu yenna akola ebyobukaba n’ensolo.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

22 (H)“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne mwannyina omuwala wa kitaawe, oba muwala wa nnyina.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

23 (I)“Akolimirwe omuntu yenna eyeebaka ne nnyina wa mukazi we.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

24 (J)“Akolimirwe omuntu yenna atemula munne.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

25 (K)“Akolimirwe omuntu yenna akkiriza okugulirirwa atte munne ataliiko musango.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

26 (L)“Akolimirwe omuntu yenna atagondera bigambo ebiri mu mateeka gano.”

Abantu bonna ne baddamu nti, “Amiina.”

Read full chapter