Add parallel Print Page Options

Firipo; ne Battolomaayo;

ne Tomasi; ne Matayo, omusolooza w’omusolo;

ne Yakobo, omwana wa Alufaayo; ne Saddayo;

Read full chapter

Yesu ly’Ekkubo Erituusa Abantu eri Kitaawe

(A)Tomasi n’amugamba nti, “Mukama waffe, tetumanyi gy’olaga, kale tuyinza tutya okumanya ekkubo?”

Read full chapter

Yesu Alabikira Tomasi

24 (A)Naye Tomasi, omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri, ayitibwa Didumo, teyali na banne Yesu bwe yajja. 25 (B)Bayigirizwa banne ne bamugamba nti, “Tulabye Mukama waffe.”

Ye n’abagamba nti, “Okuggyako nga ndabye enkovu ez’emisumaali mu bibatu bye, ne nteeka olunwe lwange mu nkovu ezo era ne nteeka ekibatu kyange mu mbiriizi ze, sigenda kukkiriza.”

26 (C)Bwe waayitawo ennaku munaana, abayigirizwa ba Yesu, era bali mu nnyumba, Tomasi yali nabo. Yesu n’ajja, enzigi nga nsibe, n’ayimirira wakati mu bo n’abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe,” 27 (D)Awo n’agamba Tomasi nti, “Kale teeka engalo zo wano, laba ebibatu byange. Teeka ekibatu kyo mu mbiriizi zange. Lekeraawo okuba atakkiriza, naye kkiriza.”

28 Tomasi n’amuddamu nti, “Ggwe Mukama wange era Katonda wange.”

Read full chapter

(A)Simooni Peetero, ne Tomasi ayitibwa Didumo, ne Nassanayiri ow’e Kaana eky’e Ggaliraaya, ne batabani ba Zebbedaayo, n’abayigirizwa abalala babiri, bonna baali wamu.

Read full chapter

13 (A)Ne balaga mu kisenge ekya waggulu mu nnyumba mwe baali basula, era be bano:

Peetero, ne Yokaana ne Yakobo, ne Andereya,

ne Firipo ne Tomasi,

ne Battolomaayo, ne Matayo,

ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni eyayitibwanga “Omuzerote[a]”, ne Yuda, omwana wa Yakobo.

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:13 Omuzerote Abazerote be baayeekeranga gavumenti y’Abaruumi mu biro ebyo