Add parallel Print Page Options

14 (A)Yesu bwe yava eyo n’alaba, abantu bangi n’abasaasira n’awonya abalwadde baabwe.

Read full chapter

17 (A)afulumenga era ayingirenga mu maaso gaabwe, omuntu anaabafulumyanga era anaabayingizanga, abantu ba Mukama baleme okuba ng’endiga ezitaliiko musumba.”

Read full chapter

(A)Kyezaava zisaasaana, kubanga tezaalina musumba, ne ziba kya kulya eri ensolo enkambwe zonna ez’omu nsiko.

Read full chapter

(A)Endiga zange zaasaasaana, ne zibuna ku nsozi zonna na ku buli kasozi akawanvu, ne zisaasaana okubuna ensi yonna, ne zibulwako azinoonya wadde okuzibuuliriza.

Read full chapter

(A)Kubanga bakatonda abalala
    n’abalaguzi balaba okwolesebwa okw’obulimba;
ne baloota ebirooto eby’obulimba,
    ne bagumya abantu eby’obulimba.
Abantu kyebava bazuŋŋana ng’endiga,
    nga banyigirizibwa olw’obutaba na musumba.

Read full chapter

34 (A)Yesu bwe yava mu lyato n’alaba ekibiina ky’abantu bangi abaali bakuŋŋaanye n’abasaasira nga bali ng’endiga ezitalina musumba. Awo n’atandika okubayigiriza ebintu bingi.

Read full chapter