Add parallel Print Page Options

25 (A)Peetero n’abaddamu nti, “Awa!”

Peetero n’ayingira mu nnyumba. Naye Yesu n’amwesooka n’amubuuza nti, “Olowooza otya Simooni, bakabaka b’ensi basolooza omusolo ku bantu baabwe abatuuze oba ku bannamawanga be baba bawangudde?”

Read full chapter

17 (A)Kale tutegeeze, olowooza ekituufu kye kiri wa? Kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba si kituufu?”[a]

Read full chapter

Footnotes

  1. 22:17 Abafalisaayo baayagalanga nnyo ensi yaabwe, era baalwanyisa nnyo obufuzi bw’Abaruumi, ate nga bakyawa n’abagoberezi ba Keerodi, abawagiranga Abaruumi. Kyokka mu nsonga eri mu nnyiriri ezo waggulu Abafalisaayo beegatta wamu n’Abakeerodi okutega Yesu n’ebibuuzo. Bwe baagezaako mu bigambo ne balemwa, kwe ku mubuuza obanga kyali kituufu okuwa Kayisaali omusolo oba tekyali kituufu (lunny 17). Singa yaddamu nti tekyali kituufu, Abakeerodi baali beetegese okumuwawaabira eri gavana Omuruumi, era n’oluvannyuma yandisaliddwa omusango gwa kufa. Singa yaddamu nti kituufu, Abafalisaayo baali beetegese okumwogerako nga bw’atabulatabula ensi era nga bw’atayagala nsi ye.

21 (A)Ne bamuddamu nti, “Bya Kayisaali.” N’abagamba nti, “Kale ebya Kayisaali mubiwenga Kayisaali, n’ebya Katonda mubiwenga Katonda.”

Read full chapter

(A)Ne batandika okumuwawaabira nti, “Omuntu ono ajagalaza eggwanga lyaffe, ng’atuziyiza okuwa Kayisaali omusolo, nga yeeyita Kristo, kabaka.”

Read full chapter