Matayo 27:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)ne bawa Yesu wayini atabuddwamu omususa, naye bwe yakombako n’amugaana.
Read full chapter
Makko 15:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Ne baddira wayini atabuddwamu envumbo ne bamuwa anyweko, naye n’amugaana.[a]
Read full chapterFootnotes
- 15:23 Wayini atabuddwamu envumbo kyali kyakunywa ekyakendezanga ku bulumi. Envumbo kimera ekisangibwa mu ddungu ly’e Buwalabu ne mu bitundu ebimu ebya Afirika
Yokaana 19:28-30
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okufa kwa Yesu
28 (A)Yesu bwe yamanya nga byonna biwedde, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire, n’ayogera nti, “Ennyonta ennuma.” 29 (B)Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde wayini omukaatuufu, ne bannyikamu ekyangwe, ne bakiteeka ku kati ka ezobu ne bakiteeka ku mumwa gwa Yesu. 30 (C)Bwe yakombako n’agamba nti, “Kiwedde.” N’akutamya omutwe gwe n’awaayo obulamu bwe.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.