Add parallel Print Page Options

Okusiiba

16 (A)“Bwe musiibanga, temukiraganga nga bannanfuusi bwe bakola. Kubanga batunuza ennaku balyoke balabike mu bantu nti basiiba, mbategeeza ng’abo, eyo y’empeera yokka gye bagenda okufuna. 17 Naye ggwe bw’osiibanga olongoosanga enviiri zo n’onaaba ne mu maaso, 18 (B)abantu baleme kutegeera nti osiiba, okuggyako Kitaawo ali mu ggulu era alaba mu kyama alikuwa empeera.”

Read full chapter

(A)Awo bwe baali nga basinza Mukama era nga bwe basiiba, Mwoyo Mutukuvu n’agamba nti, “Munjawulire Balunabba ne Sawulo olw’omulimu gwe mbayitidde.”

Read full chapter