Add parallel Print Page Options

(A)Mu mirembe Yuda gye yagenda efugibwa bakabaka bano: Yosamu, ne Akazi, ne Keezeekiya, Mikka eyali Omumolasuuti, yafuna obubaka obuva eri Mukama, obukwata ku kibuga Samaliya ne Yerusaalemi.

(B)Muwulire mmwe abantu mwenna,
    muwulire mmwe ebintu byonna ebiri mu nsi, ne bonna abagirimu,
Mukama Ayinzabyonna asinziira mu yeekaalu ye entukuvu,
    ng’alina by’abalumiriza.
(C)Mulabe, Mukama ajja ng’ava mu ggulu ku ntebe ye
    ng’akka ku nsi ng’atambulira ku nsozi waggulu.
(D)N’ensozi zirisaanuukira wansi w’ebigere bye
    era n’ebiwonvu ne byatika ne bisaanuuka
ng’ebisenge by’emizindu by’enjuki ebyokeddwa omuliro,
    ng’amazzi g’ekiyiriro bwe gakulukuta ku lusozi nga gayirira ku bbangabanga.
(E)Bino byonna biribeerawo olw’okwonoona kwa Yakobo,
    olw’ebibi by’ennyumba ya Isirayiri.
Ekibi kya Yakobo kye kiruwa?
    Si ye Samaliya?
Kifo ki ekigulumivu ekya Yuda?
    Si Yerusaalemi?

(F)“Noolwekyo nzija kubetenta Samaliya ngifuule ebifunfugu,
    kifuuke nga ennimiro ey’okusimbamu emizabbibu.
Ndiyiwa amayinja gaakyo mu kiwonvu
    N’emisingi gyakyo ne ngireka nga gyasamye.
(G)Bakatonda baakyo bonna be basinza, balisekulwasekulwa;
    ebintu byonna ebyaweebwayo ng’ebirabo mu yeekaalu biriggya omuliro;
    ndizikiriza bakatonda baakyo bonna be beekolera.
Ng’ebirabo ebyo bwe byafunibwa mu bwenzi,
    bwe bityo bwe biritwalibwa mu bwenzi ne bikozesebwa.”

Okukaaba n’Okukungubaga

(H)Kyendiva nkaaba ne nkuba ebiwoobe,
    ne ntambula nga sambadde ngatto, era nga ndi bukunya.
Ndikaaba ng’ekibe,
    ne nkuba ebiwoobe ng’abaana b’ekiwuugulu.
(I)Ekiwundu kye tekiwonyezeka,
    ne Yuda ky’alwadde.
Kituukidde ddala ku mulyango gw’abantu bange,
    ne ku Yerusaalemi yennyini.

Omulabe Asemberera Yerusaalemi

10 Temukibuulira mu Gaasi,
    temukaaba maziga n’akatono.
Mwevulungulire mu nfuufu
    mu Besuleyafula.
11 (J)Muyiteewo nga muli bwereere nga muswadde,
    mmwe ababeera mu Safiri.
Ababeera mu Zanani
    tebalifuluma.
Beswezeeri ekuba ebiwoobe,
    kubanga tokyalinayo buddukiro.
12 (K)Abo ab’omu Malosi bali mu kulumwa okw’amaanyi
    nga balindirira okubeerwa,
kubanga ekibonoobono kivudde eri Mukama,
    ne kituuka ne ku mulyango gwa Yerusaalemi.
13 (L)Mwanguwe okusiba amagaali ku mbalaasi
    mmwe ababeera mu Lakisi.
Mmwe nsibuko y’ekibi
    mu Bawala ba Sayuuni,
kubanga ebibi bya Isirayiri byasangibwa mu mmwe.
14 (M)Noolwekyo muligabira Molesesu eky’e Gaasi
    ebirabo ebimusiibula.
Ebibuga by’e Akuzibu birikakasibwa nga bya bulimba
    eri bakabaka ba Isirayiri.
15 (N)Mmwe abantu b’omu Malesa,
    ndibasindikira alibawangula n’abafuga.
Oyo ekitiibwa kya Isirayiri
    alijja mu Adulamu.
16 (O)Mukungubage, n’emitwe mugimwe
    olw’abaana bammwe be mwesiimisa;
mumwe enviiri zammwe nga mukungubaga, emitwe gyammwe gibe ng’egy’ensega,
    kubanga abaana bammwe balibaggyibwako ne batwalibwa mu buwaŋŋanguse.