Add parallel Print Page Options

(A)“Jjukira ebiragiro bye wawa omuddu wo Musa, ng’oyogera nti, ‘Bwe mutaabeerenga beesigwa, ndibasaasaanya mu mawanga,

Read full chapter

10 (A)Naye Sanubalaati[a] Omukoloni ne Tobiya omukungu Omwamoni bwe baakiwulira, ne banyiiga nnyo bwe baamanya nga waliwo omuntu afuddeyo ku mbeera y’abaana ba Isirayiri.

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:10 Sanubalaati ye yali owessaza wa Samaliya.

20 (A)Awo Miryamu, nnabbi omukazi era mwannyina wa Alooni, n’akwata ekitaasa; n’abakazi abalala ne bamugoberera nga balina ebitaasa era nga bwe bazina.

Read full chapter

17 (A)“Kaakano omwana w’omuntu, amaaso go gateeke ku bawala b’abantu bo aboogera eby’obunnabbi bye bayiiyizza. Bawe obunnabbi, oyogere nti, 18 ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Zibasanze abakazi abatunga ebikomo eby’obulogo ku mikono gyabwe ne batunga ebyokwebikkirira ku mutwe ebiwanvu mu ngeri ez’enjawulo basobole okutega abantu. Olitega obulamu bw’abantu bange, naye ne weesigaliza obubwo? 19 (B)Onswazizza mu bantu bange olw’embatu entono eza sayiri n’olw’obukunkumuka bw’emigaati, bw’osse abantu abatateekwa kuttibwa, ate n’oleka abatateekwa kuba balamu, ng’obalimba nabo ne bawuliriza eby’obulimba.

20 “ ‘Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Ndi mulabe w’obulogo bwo, bw’okozesa okuteega abantu ng’ateega ebinyonyi, era ndibaggya mu mikono gyo. Ndinunula abantu be wateega ng’ebinyonyi n’obasiba. 21 (C)Ndiyuza ebyambalo byo ebyokwebikkirira, ne mponya abantu bange mu mikono gyo, ne bataddayo kugwa mu mutego gwa buyinza bwo, olyoke omanye nga nze Mukama Katonda. 22 (D)Kubanga wanakuwaza abatuukirivu n’obulimba bwo, ate nga nnali sibanakuwazza. Olw’okuleetera abakozi b’ebibi okweyongera mu ngeri zaabwe ezitali za butuukirivu, n’owonya obulamu bwabwe, 23 (E)ky’oliva olemwa okulaba okwolesebwa okukyamu wadde okufuna okubikkulirwa. Ndiwonya abantu bange okuva mu mikono gyo, olyokye omanye nga nze Mukama Katonda.’ ”

Read full chapter

(A)Yalina abaana be abawala abaali batannafumbirwa bana nga balina ekirabo eky’obunnabbi.

Read full chapter

20 (A)Kyokka nkulinako ensonga eno. Ogumiikiriza omukazi Yezeberi eyeeyita nnabbi omukazi akyamya abaweereza bange ng’abayigiriza obwenzi n’okulya emmere eweereddwayo eri bakatonda abalala.

Read full chapter

29 (A)Bajjukire, Ayi Katonda wange, kubanga baayonoona omulimu gw’obwakabona n’endagaano y’obwakabona ne ey’Abaleevi.

Read full chapter

Bannabbi Abalimba

(A)Ebikwata ku bannabbi:

omutima gwange gwennyise mu nda yange
    amagumba gange gonna gakankana,
nninga omusajja omutamiivu,
    ng’omusajja afugiddwa omwenge,
ku lwa Mukama
    n’ebigambo bye ebitukuvu.
10 (B)Ensi ejjudde abenzi;
    olw’ekikolimo ensi esigadde nkalu
    era n’amalundiro g’omu ddungu meereere.
Bannabbi bagoberera amakubo amabi
    era bakozesa obuyinza bwabwe mu butali bwenkanya.

11 (C)“Nnabbi ne kabona bombi tebalina Katonda,
    ne mu yeekaalu yange mbasanze nga bakoleramu ebibi,”
    bw’ayogera Mukama.
12 (D)“Noolwekyo amakubo gaabwe gajja kuseerera
    era bajja kusuulibwa mu kizikiza
    era eyo gye baligwira.
Ndibaleetako okuzikirira
    mu mwaka gwe balibonerezebwamu,”
    bw’ayogera Mukama.

13 (E)“Mu bannabbi b’e Samaliya
    nalaba ekintu kino ekyenyinyalwa.
Balagulira wansi wa Baali
    ne babuza abantu bange Isirayiri.
14 (F)Era ne mu bannabbi ba Yerusaalemi
    ndabye ekintu ekibi ennyo.
    Bakola eby’obwenzi ne batambulira mu bulimba.
Bagumya abo abakozi b’ebibi
    ne wataba n’omu ava mu kwonoona kwe.
Bonna bali nga Sodomu gye ndi;
    abantu ba Yerusaalemi bali nga Ggomola.”

15 (G)Noolwekyo, bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye ebikwata ku bannabbi nti,

“Nzija kubaliisa emmere ekaawa
    banywe amazzi ag’obutwa,
kubanga okuva mu bannabbi ba Yerusaalemi,
    obutatya Katonda bubunye mu nsi yonna.”

16 (H)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’eggye nti,

“Temuwuliriza bannabbi bye babategeeza:
    babajjuza essuubi ekyamu.
Boogera ebirooto ebiva mu mitima gyabwe,
    so si ebiva mu kamwa ka Mukama Katonda.
17 (I)Bagamba abo abannyooma nti,
    Mukama Katonda agamba onoobeera n’emirembe.’
Abo abagoberera obukakanyavu bw’emitima gyabwe
    babagamba nti, ‘Tewali kabi kanaakujjira.’
18 Naye ani ku bo
    eyali abadde mu lukiiko lwa Mukama Katonda okulaba
    oba okuwulira ekigambo kye?
19 (J)Laba, omuyaga gwa Mukama
    gujja kubwatuka n’ekiruyi,
empewo ey’akazimu
    eyetooloolera ku mitwe gy’abakozi b’ebibi.
20 (K)Obusungu bwa Mukama tebujja kukoma
    okutuusa ng’amaze okutuukiriza
    ekigendererwa ky’omutima gwe.
Mu nnaku ezijja, mujja kukitegeera bulungi. 21 (L)Situmanga bannabbi bano,
    songa bagenda
    badduka n’obubaka buno,
era sogeranga nabo,
    songa bategeeza obunnabbi.
22 (M)Naye singa bayimirira mu maaso gange,
    bandibuulidde abantu bange ebigambo byange,
era bandibaggye mu makubo gaabwe amabi
    era ne mu bikolwa byabwe ebibi.

23 (N)“Ndi Katonda abeera okumpi wokka,
    so si abeera ewala?”
    bw’ayogera Mukama.
24 (O)“Omuntu ayinza okwekweka mu bifo eby’ekyama
    ne sisobola kumulaba?”
    bw’ayogera Mukama.
    “Sijjuza eggulu n’ensi?”
    bw’ayogera Mukama.

25 (P)“Mpulidde bannabbi aboogera eby’obulimba mu linnya lyange. Bagamba nti, ‘Naloose! Naloose!’ 26 (Q)Kino kinaakoma ddi mu mitima gy’abo bannabbi b’obulimba, abategeeza eby’obulimba ebiva ku mitima gyabwe? 27 (R)Balowooza nti ebirooto bye balootolola bannaabwe bijja kuleetera abantu bange okwerabira erinnya lyange, nga bakitaabwe bwe beerabira erinnya lyange nga basinza Baali. 28 Nnabbi alina ekirooto ayogere ekirooto kye, n’oyo alina ekigambo kyange akyogere mu bwesigwa. Kubanga ebisusunku birina nkolagana ki n’eŋŋaano?” bw’ayogera Mukama. 29 (S)“Ekigambo kyange tekiri nga muliro, ng’ennyondo eyasaayasa olwazi?” bw’ayogera Mukama.

30 (T)“Noolwekyo, ndi mulabe wa bannabbi ababbiŋŋanako ebigambo ebiva gye ndi,” bw’ayogera Mukama. 31 (U)“Weewaawo,” bw’ayogera Mukama, “saagalira ddala bannabbi abayogerayogera nga bagamba nti, ‘Bw’atyo Mukama bw’agamba.’ 32 (V)Ddala ddala ndi mulabe w’abo abawa obunnabbi bw’ebirooto ebikyamu. Babyogera ne babuza abantu bange n’obulimba bwabwe obutaliimu, ate nga saabatuma wadde okubateekawo. Tebalina kye bayamba bantu bano n’akatono,” bw’ayogera Mukama.

Obubaka Obukyamu ne Bannabbi Aboobulimba

33 (W)“Abantu bano, oba nnabbi oba kabona bw’abuuza nti, ‘Bubaka ki Mukama bw’atutumye?’ Bagambe nti, ‘Bubaka ki? Nzija kubabuulira, bw’ayogera Mukama.’ 34 (X)Nnabbi, oba kabona oba omuntu yenna bw’agamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ Nzija kubonereza omusajja oyo n’ab’omu maka ge. 35 (Y)Kino buli omu ky’anagamba mikwano gye oba ab’eŋŋanda ze. ‘Mukama, azeemu ki? Oba kiki Mukama ky’ayogedde?’ 36 (Z)Naye temuddayo kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ kubanga buli kigambo kya muntu kifuuka bubaka bwe era mukyusa ebigambo bya Katonda omulamu, Mukama ow’Eggye, Katonda waffe. 37 Kino kye munaabuuza nnabbi nti, ‘Kiki Mukama kyakuzzeemu?’ Oba nti, ‘Mukama, agambye ki?’ 38 Naye era mujja kugamba nti, ‘Buno bwe bubaka Mukama bwatutumye,’ wadde nga nabagamba nti, Temusaanye kwogera nti, ‘Buno bwe bubaka bwa Mukama,’ 39 (AA)kyenaava mbagobera ddala mu maaso gange ne mu kibuga ekyo kye nabawa, mmwe ne bakitammwe. 40 (AB)Ndibaleetako ekivume ekitaliggwaawo, n’ensonyi ez’olubeerera ebitagenda kwerabirwa.”

Read full chapter

(A)“Ku lunaku olwo, ndiggya amannya ga bakatonda abalala okuva mu nsi, galeme kuddayo kujjukirwa, era nzigye bannabbi n’omwoyo ogutali mulongoofu mu nsi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. (B)Era singa omuntu yenna awa obunnabbi, kitaawe ne nnyina abamuzaala bennyini balimugamba nti, “Oteekwa kufa kubanga oyogedde eby’obulimba mu linnya lya Mukama.” Bw’aliwa obunnabbi, bakadde be bennyini bamufumitanga.

Read full chapter