Add parallel Print Page Options

Alutagizerugizi Aweereza Nekkemiya e Yerusaalemi

(A)Awo mu mwezi gwa Nisani mu mwaka ogw’amakumi abiri ku mulembe gwa Kabaka Alutagizerugizi[a], nga bamuleetedde wayini, ne nzirira wayini ne muwa kabaka. Nnali sinakuwalirangako mu maaso ge. Kabaka n’ambuuza nti, “Kiki ekikunakuwazizza otyo ng’omulwadde? Kino si kigambo kirala wabula obuyinike obw’omu mutima.”

Ne ntya nnyo, (B)naye ne ŋŋamba kabaka nti, “Kabaka abeere omulamu emirembe gyonna. Lwaki sinakuwala ng’ekibuga bajjajjange gye baaziikibwa kizise, nga ne wankaaki waakyo yayokebwa omuliro?”

Kabaka n’ambuuza nti, “Kiki ky’oyagala?” Awo ne nsaba eri Katonda w’eggulu, n’oluvannyuma ne nziramu kabaka nti, “Kabaka bw’anasiima, era omuddu wo bw’anaalaba ekisa mu maaso go, ansindike ŋŋende mu Yuda, mu kibuga bajjajjange gye baaziikibwa, nkiddaabirize.”

(C)Awo kabaka, ne mukyala we ng’amuli ku lusegere, n’ambuuza nti, “Olugendo lwo luliba lwa nnaku meka, era olidda ddi?” Kabaka n’asiima okuntuma, ne neegerera ekiseera.

(D)Ne nsaba kabaka nti, “Kabaka bw’anaasiima, awandiikire abaamasaza abali emitala w’omugga Fulaati ebbaluwa, ntambule mirembe okutuuka mu Yuda. (E)Ate era nsaba ebbaluwa gye nnaatwalira Asafu omukuumi w’ekibira kya kabaka, ampe emiti gye ndikolamu embaawo ez’okubajjamu enzigi za yeekaalu, n’eza wankaaki wa bbugwe w’ekibuga, n’ekifo we nnaabeeranga.” Olw’omukono gwa Katonda wange ogwali nange, kabaka n’ampa bye namusaba.

Read full chapter

Footnotes

  1. 2:1 Alutagizerugizi ye Akaswero

25 (A)“Manya era tegeera ng’okuva ne kaakano ekiragiro nga bwe kiweereddwa ku kuzzibwawo kwa Yerusaalemi n’okutuusa ku kujja okw’omufuzi oyo eyafukibwako amafuta, waliba ebbanga lya wiiki musanvu. N’oluvannyuma kirizimbibwa mu wiiki nkaaga mu bbiri ne kiteekebwamu enguudo n’olusalosalo, newaakubadde nga biriba biro bya kutegana.

Read full chapter

Okukoowoola olw’Okuddaabiriza Ennyumba ya Mukama

(A)Mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo, ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’omukaaga, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Kaggayi okutegeeza Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nti:

Read full chapter

15 (A)ku lunaku olw’amakumi abiri mu ennya mu mwezi ogw’omukaaga mu mwaka ogwokubiri ogw’okufuga kwa kabaka Daliyo.

Read full chapter

Mukama ayita Abantu be okudda gy’ali

(A)Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Daliyo omufuzi w’e Buperusi mu mwezi ogw’omunaana, ekigambo kya Mukama ne kijjira Zekkaliya omwana wa Berekiya, omwana wa Iddo nnabbi, nga kigamba nti:

Read full chapter